Awawaabidde kkampuni ekola olw’e Busaabala
May 12, 2025
MUNNAMATEEKA addukidde mu kkooti ku by’oluguudo okwafiiridde Rajiv Ruparellia mutabani wa nnaggagga Sudhir, ng’ayagala kkooti egiragire ekomye okussaawo emisanvu era erukole mu bwangu luggwe.

NewVision Reporter
@NewVision
MUNNAMATEEKA addukidde mu kkooti ku by’oluguudo okwafiiridde Rajiv Ruparellia mutabani wa nnaggagga Sudhir, ng’ayagala kkooti egiragire ekomye okussaawo emisanvu era erukole mu bwangu luggwe.
Joshua Okello agenze mu Kkooti Enkulu etawulula emisango gy’engassi n’awaabira
kkampuni ya China State Construction Engineering Company ekola oluguudo olwo
n’asaba kkooti egiragire obutaddamu kuteeka misanvu mu kkubo kuba kivuddeko abantu bangi okufiirwa obulamu sso nga gireetawo n’akalippagano k’ebidduka mu kitundu kino.
Ku ttaawo lino we waafiira Rajiv bwe ali avuga mmotoka nnamba UAT 658H bwe
yatomera emisanvu egyali giteekeddwaawo emmotoka n’ekwata omuliro n’esaanawo.
Okufa kwa Rajiv n’abantu abalala mu kifo ekyo Okello agamba nti tekuyinza
kusonyibwa kuba kulaga obulagajjavu obw’amaanyi okuva mu baapatana okukola
oluguudo luno era balina okuvunaanyizibwa ku bulamu bw’abantu bonna abafiira mu kifo ekyo.
No Comment