Ab’e Kasanje beekalakaasizza olw’ekisaawe kyabwe okusendebwa
May 13, 2025
ABATUUZE abakozesa ekisaawe kya Sabawaali mu Town Council y’e Kasenje baakedde kwekalakaasa olw’abantu abatannategeerekeka okusenda ekisaawe kino kyebabadde bakozesa emyaka egisoba mu 100.

NewVision Reporter
@NewVision
ABATUUZE abakozesa ekisaawe kya Sabawaali mu Town Council y’e Kasenje baakedde kwekalakaasa olw’abantu abatannategeerekeka okusenda ekisaawe kino kyebabadde bakozesa emyaka egisoba mu 100.
Poliisi y’omu kitundu yazze n’egezaako okubakkakkanya wabula nga
buteerere. Bano baabadde baawanise ebipande okuli obubaka obulaga obutali bumativu olw’abakulembeze baabwe obutafaayo ng’ekisaawe kino kitwalibwa.
Babadde bakyekalakaasa omubaka wa Busiro South abakiikirira mu palementi,
Charles Matovu n’atuuka naye n’assa poliisi ku nninga okubuulira abatuuze abantu
abaasenze ekisaawe kyaabwe n’etabakwata ng’ate eriraanye ekisaawe.
Omubaka Matovu yasabye abatuuze okukkakkana n’tegeezeza nga bw’agenda okukwatagana n’abakulu mu Buganda Land Board wabeewo olukiiko ku Lwokusatu wiiki eno batangaaze ku nsonga eno kuba ekisaawe kino kya ggombolola ya Ssaabasajja
Kabaka.
Shakib Ssekalaala, omu ku batuuze yategeezezza nti ekisaawe kino kyabaweebwa omugenzi Alexendar Ndiwalana Gabunga mu 1943 nga babadde bakikozesa emyaka egisoba mu 100 nti wabula kibeewuunyisa ate bannakigwanyizi okwagala okukitwala mu
bukyamu. Mu kiseera kino abaakisenze baataddeko ssengenge
No Comment