Minisita Mayanja ayingidde mu mivuyo gy’ettaka e Gomba
May 13, 2025
MINISITA omubeezi ow’Ebyettaka, Dr Sam Mayanja ayingidde mu nsonga z’ettakaezisuza abantu mu disitulikiti y’e Gomba ku tebuukye, nga balumiriza eyali omubaka waayo mu Palamenti, Israel Kayonde okubagobaganya ku ttaka eriweza yiika 1800.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
MINISITA omubeezi ow’Ebyettaka, Dr Sam Mayanja ayingidde mu nsonga z’ettaka
ezisuza abantu mu disitulikiti y’e Gomba ku tebuukye, nga balumiriza eyali omubaka waayo mu Palamenti, Israel Kayonde okubagobaganya ku ttaka eriweza yiika 1800.
Kigambibwa nti Kayonde abadde akozesa ne poliisi y’e Kanoni okuwamba ebibanja by’abantu nga yeddiza n’oluzzi lwa Gavumenti. Bino Mayanja yabyogeredde ku pulogulaamu ‘Mugobansonga Special’ ebeera ku Bukedde Fa Ma buli Ssande, okuva ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi.
Ensonga: E Gomba waliyo enso z’ettaka ezikutte wansi ne waggulu ng’eyali omubaka waayo, Israel Kayonde y’abatigomya. Minisita Mayanja: Eggulire eryafulumye ku Agataliiko Nfuufu nange naligoberedde, omusajja eyazinda ebyalo nga bitaano (5)
n’atandika okutigomya abantu.
Ebyalo bino ebiri mu Ggombolola y’e Kabulassoke kuliko; Mutasindwa, Lusaana, Kantunku, Kabwire n’ebirala.
Naye kansookere ku kya ddaamu ya Gavumenti ng’abantu kwe baggya amazzi ag’okunywa, ag’okukozesa awaka, ag’okunywesa ebisolo byabwe naye n’agisibirayo munda nga tebakyasobola kugendayo kuba omukulu yawamba ettaka!
Okusooka, oluzzi kintu kya buli omu. Teruliiko nnannyini lwo, era n’okuviira ddala emabega mu tteeka lya ‘Busuulu n’Envujjo’ erya 1928, lyalagira nti tewali
nnannyini Mailo akkirizibwa kuziba kkubo liyita mu ttaka lye nga ligenda ku luzzi. Omukulu ono yazza emisango egiwera, okuziba ekkubo erigenda eri ekintu ekiganyula abantu, n’okutaataaganya pulojekiti Gavumenti gye yassaamu ne ssente eganyule abantu bonna. Kayonde mmumanyi, kuba ayogerwako nga omu ku balwanyi ba NRA
abaasooka naye kinneewuunyisa nti ebintu nga bino mbiwulira ku ye. Kankiwe omukisa okukyetegereza.
Mu mboozi eyafulumidde mu mboozi ya Agataliiko Nfuufu ku Bukedde TV yalaze nti yalagira abantu nti baveewo, ekyokubiri nti bagabane abawe ebyapa, ate ekirala nti abawe 1,000,000/- buli yiika bamuviire.
Ekirala nti yabagamba etteeka ligamba nti ba ddembe oweekyapa okupima ettaka lye, n’agabana ekibanja ky’omuntu bw’aba talina sente za kwegula. Kino kikyamu
nnyo era tekirina we kikkirizibwa.
Nsaba Kayonde aggulewo, abantu bakozese ddaamu nga bwe kiri mu nteekateeka ya Gavumenti.
Bwe kiba nti ettaka liryo olina okulekawo ekkubo abantu ne bayingira ne balukozesa kuba si kyabugagga kyo nga bw’oba ne mmotoka oba ennyumba yo.
Essanyu lyo tolizimbira ku nnaku y’abalala, tobonyaabonya bantu kufiirwa nte kuba weefuze oluzzi lw’otaatonda. Ekirala, kye ky’okugoba abantu ku ttaka, ate nawulidde nti na ttaka lya Public Land. Public Land mu mateeka kitegeeza;
Okuva mu ndagaano ya 1900 waaliwo okugabanya ettaka, ettaka lya Buganda lyagabanyizibwamu emirundi ebiri okuli; Public Land ne Mailo Land. Public Land
lye lyatuumibwa Crown Land nga yla Square Mailo nga 8,000. Lifugibwa etteeka
lye baatuuma Crown Land Ordinance 1903 nga mu bufunze lye ttaka eritakwataganyizibwa nnannyini lyo nga liri mu buli disitulikiti.
Bwe twatuuka okwefuga m 1962, ettaka lya Crown Land ne likyusibwa mu tteeka erya
Public Land Ordinance 1962 era wonna we lyali ne lifuuka ttaka lya Freehold. Ne liragira buli disitulikiti ekole District Land Board libeere nga liri wansi waalyo. Ate
mu bitundu omutaali disitulikiti awaali enkola eya Federo nga mu Buganda, bo bakole Land Board yaayo nga wano mu Buganda waliwo Buganda Land Board, ga teringa eno enyaga abantu ensangi zino.
Mu 1966, enkyukakyuka zajja mu Uganda, Gavumenti empya n’egobawo obukulembeze obw’ensikirano olwo lyonna ne lidda mu nkola ya disitulikiti era bwe kiri okutuusa leero.
Kale kikyamu okuyita ettaka eryo nti liryo lya bwannannyin n’otandika okugobaganya abantu ku bibanja byabwe kwe bamaze ebbanga eddene
No Comment