Ssemujju akuddeko Sipiika Among waya ng'amubuuza ku byokwerinda byabwe
May 20, 2025
Omubaka wa munisipaali y’e Kira, Ibrahim Ssemujju Nganda akuddeko sipiika wa palamenti Anita Among waya bw’amutegeezezza nga bw’ayinza okubawaayo mu mannyo g’engo nga bwe gwali mu kuyisa ebbago ly’emmwaanyi olw’obunkeke obuyitiridde.

NewVision Reporter
@NewVision
Omubaka wa munisipaali y’e Kira, Ibrahim Ssemujju Nganda akuddeko sipiika wa palamenti Anita Among waya bw’amutegeezezza nga bw’ayinza okubawaayo mu mannyo g’engo nga bwe gwali mu kuyisa ebbago ly’emmwaanyi olw’obunkeke obuyitiridde.
Omubaka Ssemujju Ng'atuuka Ku Palamenti.
Mu lutuula lwa palamenti olukedde leero, era nga lubadde lukubyeko, Ssemujju olusabye olukusa n’asituka okubaako ky’ayogera ku nsonga ezigenda mu maaso, asabye sipiika okumunnyonnyola ku b’ebyokwerinda abayitiridde ku palamenti.
Ssemujju agambye nti yazze ategeezezza abalonzi okwekenneenya ebigenda mu maaso leero wabula nga ab’ebyokwerinda tebabanyiza kuyingira naye nga ebweru alabye abaserikale kw’ossa abafaanana aba SFC.
Ono atadde Sipiika ku nninga amunnyonnyole oba eby’okuggyako amataala, n’okuwamba bannamawulire tebiddemu.
Sipiika Ng'ayogerako Eri Ababaka
Amugambye asaanye annyonnyole nga bukyali oba taabaweeyo mu mannyo g’engo ekintu ekitabudde sipiika ‘nagamba lwaki aba amussa ku ssira eryo kumpi okumuyita omutujju.
Sipiika amutegeezezza mu busungu obw’ekitalo nga ye bw’agenda okukuuma ababaka be kubanga mulimu gwe nga talaba nsonga lwaki ono amujwetekako ebigambo.
No Comment