Kyabazinga atikkiddwa ddiguli eyookubiri mu Amerika
May 20, 2025
KYABAZINGA wa Busoga, William Wilberforce Kadhumbula Gabula Nadiope IV, eggulo yatikkiddwa diguli eyookubiri ku by’enkolagana z’amawanga.

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision
KYABAZINGA wa Busoga, William Wilberforce Kadhumbula Gabula Nadiope IV, eggulo yatikkiddwa diguli eyookubiri ku by’enkolagana z’amawanga.
Kyabazinga abadde asomera mu yunivaasite ya Yale Jackson School of Global Affairs mu America, yanekedde nga bamutikkira nga ne Inhebantu Jovia Mutesi amuli ku bbali awo.
Kyabazinga (ku Ddyo) N'abamu Ku Bayizi B'abadde Asoma Nabo.
Katikkiro w’obwakyabazinga Ying. Joseph Muvawala yaweerezza obubaka obutongole eri Obusoga nga bugamba nti;
“ Nnina essanyu okutegeeza eggwanga nti Kyabazinga attikkiddwa ddiguli eyookubiri eya Masters in Global Leadership okuva mu Yale Jackson School of Global Affairs mu America. Nkulisa Kyabazinga olw’okuwangula emisomo era ne nkulisa n’abantu b’omu Busoga mwenna”.
Ddiguli gye yafunye aba afuuse kafulu mu bigenda mu maaso mu mawanga ag’enjawulo mu nsi yonna.
Gwabadde mukolo gw’amatikkira ga yunivaasite eno ogwa 324 nga yatikkidde abayizi abasomera mu matendekero gaayo okwetoloola ensi.
Mu kadde kano era Kyabazinga attunka na misomo gya diguli yaakusatu (PhD) mu University of Portsmouth e Bungereza.
Mu bubaka bwe yatadde ku mukutu gwe ogwa X, Kyabazinga yagambye nti, okusoma kye kintu ky’osobola okuteekamu ssente n’osigala ng’oli mukakafu nti zijja kugenduka.
Yagasseeko nti, okusoma tekukoma ku kuyamba oyo asomye wabula, omuntu nga ye, kiyamba nnyo abavubuka okumulabirako ne bamanya amakulu gaakwo ate nti, tekukoma ne bw’omala osobola okugattako.
Okutikkira kwa yunivasite eyo kwatandise May 17 ne kuggwa eggulo nga May 19.
No Comment