Omuyambi wa Bobi ayombya abavuganya ku bwaloodi kkansala e Makindye

May 21, 2025

WAZZEEWO akasattiro mu bannakibiina kya NUP abateekateeka okuvuganya mu kamyufu okukwatira ekibiina kino bendera mu Makindye West, oluvannyuma lw’okwekutulamu ebiwayi ku beegwanyizza ekifo kya Loodi kansala.

NewVision Reporter
@NewVision

WAZZEEWO akasattiro mu bannakibiina kya NUP abateekateeka okuvuganya mu kamyufu okukwatira ekibiina kino bendera mu Makindye West, oluvannyuma lw’okwekutulamu ebiwayi ku beegwanyizza ekifo kya Loodi kansala.
Abasattira bagamba nti Sarah Mukisa Muwonge, omuwandiisi wa pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu abamu gwe bayita Bobi Wine ate ng’era Sarah y’akulira ekitongole ekiddukanya ebyemirimu ku kitebe, abeenyizeemu n’akubisa n’ebipande okuvuganya ku bwaloodi kansala ekitadde abaali baavaayo edda ku kifo ku bunkenke. Abamu ku bavuganya ku kifo kino kuliko; Shamim Nanteza Kaweesa, Susan Kibwika n’abalala.
Balumiriza nti Sarah Mukisa nti si wa mu kitundu kuba mutuuze w’e Najjeera Kyaliwajjala mu Nakawa era beebuuza gye yaggye obuvumu ate okugenda mu Makindye okwesimba eyo. Wabula ssemateeka wa Uganda, awa ebbeetu buli Munnayuganda, okwesimbawo mu kifo kyonna w’aba ayagadde.
Abali ku bunkenke mu Makindye beekwasa nti Sarah Mukisa okwegwanyiza ekifo kya loodi kansala wa Makindye West kiyuzizzaamu bannakibiina mbu era waliwo n’okutiisatiisa eri abatamuwagira mbu abateekako obukwakkulizo obutabaganya kuyingira ku kitebe kya NUP e Kavule. Abamuvuganya bali mu kutya, nti bayinza obutafuna bwenkanya kuvuganya okufuna
ENSIITAANOy’Ebyobufuzi Akamooli k’ebyobufuzi tiketi omwaka ogujja. Era waliwo abagamba nti embeera eno yeewanisizza bannakibiina emitima nga batya nti kino kyandireetawo emivuyo mu kibiina n’okutemaatema mu bammemba singa okwemulugunya kwabwe tekugonjoolwa mangu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});