FDC ekaaye ku tteeka ly'amagye eryayiseFDC eryayise

May 21, 2025

EKIBIINA kya FDC e Najjanankumbi kikyawakanya etteeka ku nzirukanya ya kkooti y’amagye n’obuwaayiro obulala obwajjidde mu ‘UPDF Amendment Bill 2025’.

NewVision Reporter
@NewVision

EKIBIINA kya FDC e Najjanankumbi kikyawakanya etteeka ku nzirukanya ya kkooti y’amagye n’obuwaayiro obulala obwajjidde mu ‘UPDF Amendment Bill 2025’. Yusuf Nsibambi, nnampala wa FDC mu Palamenti yagambye nti etteeka lino lireeteddwa mu bukyamu era lyamenye ssemateeka w’eggwanga nga n’abantu abalina okwebuuzibwako tebaabeebuuzizzaako. Yayongeddeko nti kkooti ensukkulumu tewangako Palamenti lukusa kukyusa mateeka amafu okugafuula amatuufu kuba ne kkooti yali yalagira kkooti y’amagye nti terina buyinza kuwozesezaamu bantu ba bulijjo wabula kakiiko mu magye akalina okukwasisa bannamagye empisa ababeera basiiwuuse empisa.PFF EKUNZE ABANTU
Ate ab’ekibiina kya People’s Front for Freedom (PFF) olwawandiisiddwa akakiiko k’ebyokulonda, baatandikidde mu ggiya. Nabo bawakanya etteeka ly’amagye eryabaddeko enkalu mu Palamenti n’ababaka ne beekandagga ne bafuluma nga liyisibwa. Aba PFF mu lukuhhaana lwa bannamawulire, baasabye buli Munnayuganda atandike okugoberera ebigenda mu maaso mu Palamenti n’abasobolang’amateeka gano gayisibwa. Ibrahim Ssemujju Nganda yasabye buli mubaka wa Palamenti alwanirire ssemateeka aleme kutyoboolwa era n’akuutira ne banna NRM baleme kutunda ggwanga. Ssentebe wa PFF, Amabasada Wasswa Biriggwa yagambye nti abanene mu Gavumenti basaanye babeere beegendereza nnyo nga bayisa amateeka agamu kuba gye bujja, gandikozesebwa okubavunaana.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});