Abaagala ekifo kya Loodi Mmeeya batadde Mao mu kattu

ABA DP abaagala ekifo kya Loodi Mmeeya wa Kampala beesoweddeyo wakati mu kutya nti pulezidenti Norbert Mao ali mu kattu k’okusalawo gw’agenda okuwagira kuba ne mukyala we Beatrice Kayanja Mao avuganya

Abaagala ekifo kya Loodi Mmeeya batadde Mao mu kattu
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABA DP abaagala ekifo kya Loodi Mmeeya wa Kampala beesoweddeyo wakati mu kutya nti pulezidenti Norbert Mao ali mu kattu k’okusalawo gw’agenda okuwagira kuba ne mukyala we Beatrice Kayanja Mao avuganya.

Ensonda mu kibiina ziraga nti mukyala Mao tebajja kumukkiriza kuyitawo nga tavuganyizza mu kamyufu.

Obukundi bw’abakulembeze butandise okutuula munda mu kibiina okulaba engeri gye bayinza okussa akazito ku pulezidenti Mao akkirize mukyala we avuganyizibwe mu kamyufu akasalawo ku muntu agenda okukwata bendera y’ekibiina mu Kampala ku kifo kya Loodi mmeeya.

Omu ku baagala okuvuganya ye John Bosco Muzzanganda eyakubisizza ebipande n’abisaasaanya ku mikutu emigattabantu kyokka nga naye tava ku lusegere lwa Mao era agamba nti ye yekka, y’asobola okuwangulira DP ekifo kya Loodi mmeeya.

Muzzanganda ava mu ffamire y’omugenzi Ssenseko Kulubya eyavuganya ku bwammeeya bwa Kampala era muwagizi wa Mao lukulwe.