AKABENJE K’E MUKONO: Poliisi eraze emannya g’abaalumiziddwa

May 22, 2025

ABANTU bana baafiiridde mu kabenje akagudde mu kabuga ke Wantoni e Mukono mmotoka ekika kya Fuso nnamba UBB 4227U bw’eremeredde omugoba waayo n’esaabala endala 3, bodaboda 7ssaako n’abatunda tonninnyira mu kifo kino.

NewVision Reporter
@NewVision

ABANTU bana baafiiridde mu kabenje akagudde mu kabuga ke Wantoni e Mukono mmotoka ekika kya Fuso nnamba UBB 4227U bw’eremeredde omugoba waayo n’esaabala endala 3, bodaboda 7ssaako n’abatunda tonninnyira mu kifo kino.
Bino byabaddewo ku ssaawa 3:00 ez’ekiro ku Lwokubiri.
Abaafudde baabadde tebannategeereka mannya wabula ng’omu kyategeerekese nti yabadde musajja eyabadde azze ne mutabani we mu tonninnyira okulya ekyeggulo, era bombi baafiiriddewo.
Abaalumiziddwa kuliko; Paul Ssaku 28, abeera Ku Ssatu e Mukono, Zafafu Bakiti 32, ow’omu Kirowooza, Bashir Ssaza 32 ,Gerald Lubega 32 abeera Wantoni, Jackson Kakumirizi w’e Kitete- Mukono, Aisha Nasazza 40, w’e Kigombya, Denis Lubega w’e Bweyogerere, Irene Nafuna14, Julie Busirikirwa 29, n’abalala era baatwaliddwa mu malwaliro ag’enjawulo okufuna obujjanjabi.
Mmotoka ezaagoyeddwa kwabaddeko ttakisi nnamba UAW 042E eyabadde etikka abasaabaze nga badda Kampala, UBP 359W, UAW 042T, UAQ 398 ssaako bodaboda nnamba; UFL 976T, UFN 916P UEU 698.
Denis Muyonjo nga ye ttanibboyi wa Fuso yategeezezza nti baabadde bava Kampala nga badda Busia era mu Fuso baabadde batisseemu emmaali omwabadde engoye, bookisi z’essimu 10 fulasika, ebikopo ne kalonda omulala, bwe baatuuse e Wantoni emmotoka n’ekutuka obukono n’esaabala emmotoka ezaabadde zidda e Kampala, bodaboda ezaabadde zisimbye ssaako abatunda tonninnyira mu kifo kino.
Akulira poliisi y’ebidduka, SP Michael Kananula yakakasizza akabenje kano mu kiwandiiko kye yafulumizza n’agamba nti ddereeva wa Fuso olwamaze okukola akabenje n’adduka era ng’anoonyezebwa.
Mmotoka eyakoze akabenje n’endala zaatwaliddwa ku poliisi e Mukono

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});