Abazannya zzaala balabuddwa ku bulabe bw’okugufuula omulimu
May 22, 2025
AKULIRA olukiiko olufuzi olw’akakiiko akatwala eby’emizannyo gya zzaalaegy’enjawulo mu ggwanga aka, ‘National Lotteries and Gaming Regulatory Board,’ Aloysius Mugasa Adyeri alabudde abantu okubeera abeegendereza omuzannyo guno obutabafuukira kikemo ekiyinza okubaviirako okufi irwa ebyobugagga byabwe.

NewVision Reporter
@NewVision
AKULIRA olukiiko olufuzi olw’akakiiko akatwala eby’emizannyo gya zzaala
egy’enjawulo mu ggwanga aka, ‘National Lotteries and Gaming Regulatory Board,’ Aloysius Mugasa Adyeri alabudde abantu okubeera abeegendereza omuzannyo guno obutabafuukira kikemo ekiyinza okubaviirako okufi irwa ebyobugagga byabwe.
Mugasa yategeezezza Bannamawulire ku kitebe kya NLGRB mu Kampala nti okusiba ku mizannyo kulimu okusoomoozebwa nti abo abakwenyigiddemu mu ngeri etali ya buvunaanyizibwa bamaliriza bafi iriddwa ebintu byabwe.
Yagambye nti newankubadde waliwo abantu abafunye mu mizannyo gino ebirungi, naye
n’abasoomoozeddwa era n’ebyobugagga byabwe ne bisaanawo bangi nga noolwekyo
abasiba balina okukikola n’obwegendereza.
Okusobola okumalawo embeera eno, y’ensonga lwaki etteeka erikwata ku kusiba ku mizannyo egy’enjawulo erya Lotteries and Gaming Act erya 2016, lyatondawo akakiiko akalondoola ku kusiba ku mizannyo aka ‘National Lotteries and Gaming Regulatory
Board’ (NLGRB) n’ekigendererwa eky’okulaba ng’abantu abeenyigira mu nteekateeka eno beeyongera ate nga tebagyeyambisa mu bukyamu.
Mugasa yannyonnyodde nti akakiiko ke kaakwongera okulaba engeri entuufu Bannayuganda gye basobola okweyambisaamu enkola y’okusiba ku mizannyo ne batafi irwa era ne bakyusa obulamu bwabwe. Kino kikoleddwa nga wabaawo amateeka agateekebwawo agalina okugobererwa omuli n’eryogera ku myaka omuntu gy’alina okutandikirako okusiba ku mizannyo egy’enjawulo.
Amateeka gano galina okuteekebwa mu bifo byonna okusiba ku mizannyo gye kukolerwa.
Yagambye nti essira balitadde ku kulaba ng’abantu newankubadde balina eddembe yabwe okusaasaanya ssente zaabwe nga bwe baagadde, naye ate zonna tebalina kuzeeyambisa nga basiba ku mizannyo. Kino kitegeeza nti balina okusiba n’obuvunaanyizibwa. “Okusobola okulaba ng’abantu basiba ku mizannyo n’obuvunaanyizibwa, tugenda kwongera amaanyi mu kubasomesa naddala nga tukoza leediyo, emikutu emigattabantu, okukwatagana n’ekibiina ekigatta abaamawulire abasaka ag’ebyemizannyo n’enkola endala ez’enjawulo okusobola okuyamba abantu okusiba obulungi ate
No Comment