Amawulire

Kitalo! Omubuulizi w'e Kiwoko Luweero afiiridde mu kabenje

ABAKRISTAAYO mu Bussabadinkoni bwa Kiwoko mu Bulabirizi bwa Luweero baguddemu ekiyongobero oluvannyuma lw'omubuulizi waabwe okugwa ku kabenje akamusse.

Kitalo! Omubuulizi w'e Kiwoko Luweero afiiridde mu kabenje
By: Samuel Kanyike, Journalists @New Vision

ABAKRISTAAYO mu Bussabadinkoni bwa Kiwoko mu Bulabirizi bwa Luweero baguddemu ekiyongobero oluvannyuma lw'omubuulizi waabwe okugwa ku kabenje akamusse.

Robinah Namutebi, abadde omubuulizi mu kkanisa y'e Katooke ye yafudde oluvannyuma lwa pikipiki kwe yabadde okugwa ku kabenje.

Kyategeezeddwa nti pikipiki omubuulizi kwe baabadde bamuvugira ng'akola  emirimu gye yamutuusizaako ebisago eby'amaanyi ne bamuyoolayoola era yabadde atuusibwa mu ddwaliro e Kiwoko okufuna obujjanjabi n'akutuka.

Tags:
Amawulire
Kiwoko
Mubuulizi
Kabenje
Luweero
Katooke