Polof. Kateregga aloopye nnaalongo we ku poliisi ng'amulumiriza okumubba enju n'agireka nga nkalu nga omuzikiti
Jun 17, 2025
POLOFEESA Badru Kateregga addukidde ku poliisi n’aloopa mukyala we, Nnaalongo Jolly Irakunda Shubaiha 36, nti yamubbye ebintu byonna mu nju n’agireka nga nkalu ate amaka n’agasiba, ku ggeeti n’assaako abaserikale abakambwe nga enjuki nga tebamukkiriza kugasemberera.
By Hannington Nkalubo
Journalist @New Vision
POLOFEESA Badru Kateregga addukidde ku poliisi n’aloopa mukyala we, Nnaalongo Jolly Irakunda Shubaiha 36, nti yamubbye ebintu byonna mu nju n’agireka nga nkalu ate amaka n’agasiba, ku ggeeti n’assaako abaserikale abakambwe nga enjuki nga tebamukkiriza kugasemberera.
Amaka Nnaalongo g’agambibwa okwanula n’agaleka nga gafuuse ‘muzikiti’ gasangibwa ku Plot 4-6 Mpara Close (Former Mutesa I Road) mu Upper Buziga mu division y’e Makindye.
Ezimu Ku Mmotoka Za Pulofeesa Ezigambibwa Okutwalibwa Nnaalongo.
Polof. Kateregga yagguddewo omusango gw’obubbi ku poliisi y’e Kabalagala oguli ku fayiro nnamba SD REF 66/19/05/2025 era yakoze sitatimenti ng’amenya kalonda w’ebyobugagga Nnaalongo we bye yamututteko.
Muno mulimu: ebyapa by’ettaka, mmotoka ze empya ate ez’ebbeeyi Range Rover Vogue, Jeep, Land Cruiser V8, ebiwandiiko by’Ebyenjigiriza, emidaali n’engule z’eggwanga z’azze aweebwa, engoye ze ez’ebbeeyi, ebintu by’awaka ebikozesa amasannyalaze n’ebyuma ebyenjawulo ssaako kalonda w’ebyobugagga ebibadde mu maka ge ag’ebbeeyi.
Omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza Bukedde nti omusango Polof. Kateregga yaguwaabye e Kabalagala era poliisi enoonyereza.
Mu sitatimenti gye yakoze, Polof. Kateregga yataddemu ebigambo eby’okwennyamira nti omukyala ennyumba yagirese agisibye ng’agitaddeko abaserikale b’ekitongole ky’obwannannyini ekiyitibwa Black Scorpion abatasobola kumukkiriza kugiyingiramu.
Empapula ziraga nti yasoose kwekubira nduulu ku poliisi y’e Buziga emutwala ku kyalo kyokka agikulira n’amuwabula nti ensonga nga bwe ziri z’amaka, azitwale butereevu e Kabalagala be basobola okuzikolako amangu.
Yagendeddewo e Kabalagala n’annyonnyola omuduumizi wa poliisi ku bizibu bye kyokka ate naye n’asooka amulagira nti engeri gye yaloopako edda emisango gy’okwagala okumutemula, yandibadde ensonga ze azitwala butereevu ku kitebe kya bambega e Kibuli oba e Naggulu.
Wabula Kateregga yakalambidde nti omusango gw’aggulawo mupya gwa bubbi, tegukwatagana na butemu nti gwetaagisa kutandikira ku poliisi ya wansi basobole okumuyamba amangu okuzuula ebyobugagga bye.
Yalaze nti oluvannyuma baamuwulirizza ne bamuwa abaserikale ne bamuggyako sitetimenti era fayiro ne bagiggulawo e Kabalagala. Ekiwandiiko kiraga nti amangu ddala ng’amalirizza okuloopa omusango yasabye bamuyambeko okuyingira amakaage kyokka nga poliisi terina busobozi kiseera ekyo.
Pulofeesa ensonga yazikwasizza bannamateeka be aba kkampuni ya M/S Muwema and Co. Advocates bazigoberere mu bwangu.
Polof. Kateregga amaze ebbanga ng’agugulana ne mukyala we ono era nga yamuggulako dda omusango gw’okwagala okumutemula. Kyokka n’omukyala n’aggulawo omusango ku Kateregga ng’amuvunaana okudduka mu maka n’obutalabirira baana baabwe.
Wakati mu kuwulira omusango, Polof. Kateregga yasaba kkooti nti wadde mukyala we akimuteekako nti talabirira baana naye abamu tabeekakasa oba ddala babe. Kkooti yawuliriza Kateregga era nga April 08, 2025 , n’esalawo nti bagende ku musaayi bonna babakebere.
Nga May 20, 2025, ebyavudde mu kukebera omusaayi byafulumye ng’omu ku baana biraga nti si wuwe era kino kyalese kikubye wala Nnaalongo n’alabula nti tannaba kumatira byavudde mu musaayi.
Kyokka Kateregga asekera mu kikonde nti ye yali tayagala kukebeza baana be naye Nnaalongo ye yabireeta okumutwala mu kkooti ng’amuvunaana.
Olutalo mu maka ga Kateregga lukyayinda nga kigambibwa nti kalonda w’ebyobugagga byonna ebigambibwa nti omukyala yabitutte byatikkibwa ne bitwalibwa e Rwanda.
Mu lipooti Kateregga yalaze nti ebintu byasazibwa ensalo ne bitwalibwa e Rwanda. Kyokka Kateregga akukkulumira poliisi obutayamba kwanguwa kunoonyereza ku musango gwe mu bwangu naddala ogw’okumutemula.
No Comment