Katikkiro Mayiga akubirizza abantu okujjumbira okuzza endagamuntu obuggya

Jun 18, 2025

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga akunze Bannayuganda okujjumbira okuzza obuggya endagamuntu zaabwe kubanga tekiriimu bulabe bwonna.

By Dickson Kulumba
Journalist @New Vision

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga akunze Bannayuganda okujjumbira okuzza obuggya endagamuntu zaabwe kubanga tekiriimu bulabe bwonna.

Mayiga agambye nti awulidde amaloboozi agawera ng’abantu batya okugenda kwewandiisa n’okuzza obuggya ebibakwatako n’agamba nti kino tekiriiko buzibu bwonna.

Katikkiro Mayiga ng'azza obuggya endamuntu

Katikkiro Mayiga ng'azza obuggya endamuntu

Okwogera bino asinzidde ku mbuga y’Obwakabaka bwa Buganda enkulu e Bulange-Mmengo olw’eggulo  bwabadde azza obuggya ebimukwatako mu kufuna endagamuntu n’agamba nti kino bwebakikola kijja okuyamba gavumenti okuteekerateekera obulungi eggwanga.

“ Awo nno nkubirizza abantu mu Uganda yonna,bagende bewandiise mu NIRA babeere n’endagamuntu eboogerako babeere nga Bannayuganda batuufu.Endagamuntu ekola ne mu mawanga g’Obuvanjuba bwa Afirika,”Mayiga bwagambye.

Katikkiro Mayiga agambye nti nga bakola kino, n’abaana tebasaanye kulekebwa mabega nabo babatwale babawandiise,bamanyibwe oluvanyuma lw’okumanyisibwa nti abaana 100000 bokka bebakawandisibwa.

“Abaana mubatwale mubawandiise. Simanyi lwaki abantu batya okwewandiisa,sirina kyendabamu kiri mweekyo,bwebakuwandiisa nobaaki? Endagamuntu ejja kubayamba mu bintu bingi. Ensi ekula bweetyo bwebeera,” Mayiga bwagaseeko.

Katikkiro Mayiga ng'azza endagamuntu obuggya

Katikkiro Mayiga ng'azza endagamuntu obuggya

Nga Mayiga tanawandiisibwa,Nnaabagereka Sylivia Nagginda yeyasoose okuwandisibwa okuzza obuggya endagamuntu ye.

Akulira ekitongole ekivunanyizibw aku kuwandiisa abantu mu Ggwanga ekya NIRA (National  Identification and Registration Authority), Rosemary Kisembo yeebazizza Obwakabaka olw’okukolagana nabo obulungi mu nteekateeka eno ey’okuwandiisa n’ayongera okubasaba bakunge abantu okugoberera amateeka mu nteekateeka eno.

Kisembo agambye ekimu ku bikyabalumya omutwe be baana abatono abakawandiisibwa ng’ate eggwanga lirina abaana n’abantu abatalina ndagamuntu obukadde 17 ate basaanze abantu 10000 nga bebalama okuzza obuggya ebibakwatako nebaddamu buto okusaba nga abatewandiisibwako,ekintu kyagambye nti kikyamu.

Abalala abawandisiddwa kuliko Minisita w’Abavubuka mu Buganda, Robert Sserwanga, Mukyala wa Katikkiro Margaret Mayiga n’abamu ku baana baabwe saako abakozi b’Obwakabaka ab’enjawulo.

Katikkiro Mayiga ng'azza endagamuntu omuggya

Katikkiro Mayiga ng'azza endagamuntu omuggya

Kisembo okujja e Bulange awerekeddwako Omubaka wa Gavumenti e Lubaga, Henry Kitambula. Abakungu abalala kubaddeko  Stephen Kasumba, ng’ono Maneja avunanyizibw aku kulondoola n’okwekenenya ebikolebwa mu NIRA, Capt. Darius Turyahikayo, atwala eby’okuwandiisa abantu mu Buganda, Ian Gumisiriza, avunanyizibwa ku Divizoni y’e Lubaga, Desire Katorobo omuyambi wa Kisembo, Geofffrey Sserunjogi, akoze omulimu gw’okuwandiisa abakungu.

Okuzza obuggya endagamuntu za Bannayuganda kwatandiika May 27,2025 era okutuuka leero abantu abasoba 2,500,000 be bakawandiisibwa.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});