NKALUBO MIKWANO gya ffamire ya Mohammed Ssegirinya eyali omubaka wa Kawempe North, basabye bannamwandu ababadde n’abaana abaawanduddwa ebyavudde mu musaayi nti, bave mu mmaali y’abaana abatuufu ate n’ebiwandiiko bye balina babikwase abalina obuyinza.
Kyokka abamu ku bannamwandu babaddizza omuliro nti, tebannamatira byavudde mu kukebera musaayi era bakyetegereza oba ddala byakoleddwa mu bulambulukufu. Omu ku bannamwandu, Nnaalongo Joyce Nalule yagambye nti, ye takkiriza byavudde mu musaayi kuba abfamire abaabibaddemu abadde ye tabeesiga bulungi.
Nnaalongo ye yatwala ebbujje ery’emyezi mu kuziika omugenzi Seggirinya e Kaddugala mu Masaka. Abamu ku bakungubazi beewuunya omugenzi abalala ne bamutendereza okusobola okuzaalira omwana mu bulwadde.
Baalaga nti, omwana bw’aba yali ddala wuwe, yamufunira mu kkomera oba okumuggyako enkwaso ne bazikuba omukyala!!
Bye babuusabuusa, byeragidde mu kukebera omusaayi bwe gwakakasizza nti, omwana si wa Ssegirinya. Kyokka Joyce Nalule yakalambidde nti, okutandikira ddala ku mutendera ogusooka ogw’okubayita babakebere omusaayi, waaliwo ensobi ezaakolebwa nti, tebaabawa budde wadde ebbaluwa eraga nti, kkooti y’eragidde babakebere.
Yeemulugunyizza nti, abamu ku ba ffamire ya Ssegirinya abaabiri emabega, baalina ebyabwe bye babala. Nti lwaki ye we yasabira bakebere omwana weng’omugenzi, akyaliwo yagaana?
Yalaze nti, Ssegirinya yali amwesiga nnyo okusinga bannyina ne baganda be era okukakasa ekyo tewali gwe yalaga wadde ku biwandiiko by’obugagga bye yagula oba okubibateresa.
Nalule yaweze nti, omwana wa Ssegirinya era tagenda kukkiriza nsonga kuzikomya awo. Wabula eyali omuyambi wa Ssegirinya, Thomas Bagonza, yamukudaalidde nti,
by’awakanya tabimanyi. “DNA yakoleddwa basawo ba Gavumenti abakugu era mmuwabula nti, akkirize ebyavuddemu kyokka bw’aba agugubye, addeyo bamukebere ebibye,” Bagonza bwe yagambye.
Ate eyali omuyambi wa Ssegirinya mu byobufuzi, Luswa Luwemba, yagambye n ti,ekiseera kino kya kulaba nti, ffamire ya Ssegirinya eri wamu n’abaana abana abaakakasiddwa balabirirwe bulungi n’okweyagalira mu mmaali ya kitaabwe.
Yagambye nti, amayumba agabadde gaddukanyizibwa nnamwandu Twahira Akandida, agakwase mangu ffamire ate aweeyo n’ebiwandiiko by’ettaka y’e Nakivuma bye yali yeeyamye nti, abikuumira baana.
Luwemba yalabudde nti, wadde bannamwandu abo babadde babamanyi ng’abantu
naye ebyavudde mu musaayi byabawandudde kati tebakyalina kakwate konna ku mmaali ya Ssegirinya bagiveemu erabirire abaana b’omugenzi abatuufu. “Ssente ze solozezza mu mayumba g’e Nammere zibamaze kati abalina obuyinza ku mmaali ya Ssegirinya be bagenda okutandika okugivunaanyizibwako,” Luwemba bwe yagambye.
Nnamwandu Akandida abadde Ssentebe wa bannamwandu ng’ayitibwa maama Ibra, abaana be baawanduddwa. Abadde alina ebimu ku byobugagga bya Ssegirinya by’addukanya ng’asoolozaamu ssente okuyamba ku bannamwandu abalala.
Akandida yategeezezza BUKEDDE nti, talina budde bwogera kw’ebyo, alina by’akola bingi. Wabula Luwemba yagambye nti, uli mukyala abadde addukanya emmaali bamuwadde ennaku ntono nga buli kimu akikwasizza aba ffamire ya Ssegirinya. Kigambibwa nti, abantu basatu okuli mwannyina wa Ssegirinya, Idah Nantongo, muganda wa Ssegirinya ayitibwa Godfrey Bukenyane Joseph Kaboggoza be balina obuyinza okulabirira ebintu by’abaana.
Luwemba yalabudde abasatu bano okwanguwa okubinunula bive mu mikono gy’ababirina nga tebalina baana ba Ssegirinya. Yagambye nti, Ssegirinya yaleka n’ensimbi mu Palamenti ezisoba mu bukadde 700 nazo ze bateekwa okuzirondoola ziyambe abaana abaakakasiddwa. Namwandu Mariam Nakabuye azaala omwana Sharifah Nagirinya obwedda ayogera alumya banne abaawanduddwa. “Maama
Ibra abadde kamanda waffe ng’atubegerako yawanduddwa. Nze maama bbebi era maama muto kati. Omwana wange wa myaka ena gyokka era nsab famire eyanguwe okutereeza ebintu by’abaana baffe”, Nakabuye bwe yagambye.
Godfrey Kabuye, yagambye nti, ensonga zonna baazikwasizza looya waabwe Medard Seggona abalung’amye Okusika omuguwa mu famire ya Ssegirinya kuddiridde abakyala abasoba mu munaana okuvaayo ne balaga abaana abasoba
mu18 nti, omugenzi y’abazaala ekyatabula nnyina wa Ssegirinya n’abamu ku ba ffamire ne babuusabuusa abamu ku bakyala bano balimba. Baawabulwa Sseggona, buli mukyala agamba nti, alina omwana wa Ssegirinya amutwale ku musaayi, era nti ebinaavaamu
kwe bagenda okusinziira okugabanya ebyobugagga
by’omugenzi. Wiiki ewedde, ebyavudde mu musaayi byakakasizza abaana bana okuli; Sharifa Nagirinya, Shifrah Nagirinya, Ivan Bukenya ne Alia Nagirinya, abaana b’abakyala abalala abawera 14 ne bawandulwa. Wabula kigambibwa nti, ku baawanduddwa mwe muli n’abamu bamaama baabwe be baatya okutwala ku musaayi.