Abayamba abaliko obulemu basabye Gavumenti ku ssente ezibalabirira

EBITONGOLE ebiyamba abantu abaliko obulemu bakubye omulanga eri gavumenti nti bwe wabaawo ennoongosereza ezikolebwa mu mbalirira y’eggwanga ey’omwaka 2025/26 basseemu ssente ezigenda okulabirira abaana abaliko obulemu

Abayamba abaliko obulemu basabye Gavumenti ku ssente ezibalabirira
By Patrick Kibirango
Journalists @New Vision
#Amawulire #Uganda Parliamentary Forum

EBITONGOLE ebiyamba abantu abaliko obulemu nga bikulemberwa National Union of Disabled Persons of Uganda (NUDIPU) bakubye omulanga eri gavumenti nti bwe wabaawo ennoongosereza ezikolebwa mu mbalirira y’eggwanga ey’omwaka 2025/26 basseemu ssente ezigenda okulabirira abaana abaliko obulemu eziyitibwa Child disability benefit fund obuwumbi 12 nga palamenti bwe yalagira.

Gloria Nakajubi Ng'ayogera. Ku Kkono Ye Esther Kyozira Ceo Wa Nudipu.

Gloria Nakajubi Ng'ayogera. Ku Kkono Ye Esther Kyozira Ceo Wa Nudipu.

Akulira ekitongole kya NUDIPU, Esther Kyozira, yasinzidde mu lukunga’aana lwa bannamawulire olwatudde ku kitebe ky’ekitongole e Bukoto n’agamba nti minisitule y’ekikula ky’abantu n’ebitongole ebiyamba abaliko obulemu nga bakwataganye ne gavumenti kyakkaanyizibwako okussaawo obuwumbi 12, ze baayita Child disability benefit fund okuyamba ku bizibu by’abaana abalina obulemu era palamenti n’ebakakasa nti zaali za kuteekebwa mu mbalira eyasomeddwa.

Kyokka baalabye minisita w’ebyesimbi Matia Kasaija mu mbalirira gye yasomye ensimbi zino talina we yazoogereddeko wadde. 

Bannyonnyodde nti abaana bangi abaliko obulemu balemererwa okugenda ku ssomero olw’okubulwa ebyetaago, obujjanjabi bwa buseere, ebintu byonna bye bakozesa bya bbeeyi ate ne mu bitundu gye babeera teri bantu bategeera mbeera zaabwe ng’eno y’ensonga lwaki abazadde n’abalina abaana abaliko obulemu beetaaga okuyambibwako.