Ssemaka eyali yanoba azzeeyo mu maka ge mukyala we n'abaana ne bamutwalaganya

Ssemaka azzeeyo mu maka gye yali yanobera mu December w’omwaka oguwedde, maama n'abaana bamutwalaganyizza n'engege ze yabadde abatwalidde yeetonde bazimugobezza.

Ssemaka eyali yanoba azzeeyo mu maka ge mukyala we n'abaana ne bamutwalaganya
By Saul Wokulira
Journalists @New Vision
#Amawulire #Ssemaka #Maka #Mukyala Baana #Kuddayo

Ssemaka azzeeyo mu maka gye yali yanobera mu December w’omwaka oguwedde, maama n'abaana bamutwalaganyizza n'engege ze yabadde abatwalidde yeetonde bazimugobezza.

Abamu Ku Baana Ba Mukaaga B'alumiriza Okwegatta Ne Nnyaabwe Ne Bamukuba.

Abamu Ku Baana Ba Mukaaga B'alumiriza Okwegatta Ne Nnyaabwe Ne Bamukuba.

Zevirio Mukaaga 59, amaze emyezi munaana nga yasuulawo mukazi we Eunice Nekesa 47 nga yagenda n'azimbawo akayumba ka kyuyi kimu ku kiggya mweyanobera.

Maama w'abaana agambye nti Mukaaga ali ku bukodyo kubanga alaba sizoni y'emmwaanyi yawedde kwe kwagala yezze ate sizoni bw'enaatuuka n'afunamu ku ssente nga yeecanga buto.

Bano batuuze ku kyalo Kakiika mu ggombolola y'e Kayonza mu disitulikiti y'e Kayunga.

Omukazi yaloopye ewa Collins Kafeero ow'amaka, abaana n'eddembe ly'obuntu olwa okwagala okudda ku kifuba era Kafeero agenze ku kyalo n'abatuuza.

Mukaaga agamba nti awulira oluvuvuumo nti maama w'abaana be yatandika okubaliga kye yavudde asalawo addeyo eka ng’aguze n'enva kyokka ne bamukolako olutalo ne bamugobaganya wabula naye yalese abakubye nga ffeesi y'omukazi ewulubadde.

Abaana baawadde obujulizi ku kitaabwe okukolanga effujjo ku nnyaabwe wabula ne kitaabwe 'abalumiriza okumubbako emmwaanyi.

Nekesa ng'akutte ku ttama ali mu birowoozo.

Nekesa ng'akutte ku ttama ali mu birowoozo.

Mukaaga agamba nti yasooka n'ayogera ne mukazi we ku bya Mukaaga okudda mu maka omukazi n'assaawo akakwakkulizo nti omusajja asooke kwekebeza omusaayi ekintu Mukaaga kye yakola era ebyavaamu n'abimulaga.

Wadde Mukaaga yeekebeza omusaayi, omukazi akalambidde nti ye yamukoowa olw'effujjo ly'akola omuli n'okusombanga abawala aba buli langi bw'afuna ku ssente z'emmwanyi era zimala kumuggwako n'atereera.

 

Kafeero alagidde famire eno ekomye effujjo omusajja akomye okulumba omukazi ne maama n'abaana be bakomye okukuba omusajja bwe bakiddamu waakubaggalira.

Ku by’okuddamu okwekebeza, Kafeero asuubizza Mukaaga okumutwa mu ddwaliro eddene e Kayunga abasawo beekebejje omusaayi gwe omukazi aggweemu akatoma. Era abuuliridde abaana bakomye okulwana ne kitaabwe wabula bamusseemu ekitiibwa ekimugwanira.