Essomero lya Uganda Martyrs High School Lubaga lijaguzza emyaka 59 bukya litandikibwawo.
Omuwandiisi Omukulu ow’essaza ekkulu ery’e Kampala, Faaza Dr Pius Male Ssentumbwe asinzidde kumukolo ogw’okujaguza n’asiima Babbulaaza b’e Kisubi (Brothers of Christian Instruction) abaliddukanya olw’okugunjula obulungi abaana b’eggwanga ngababasomesa eby’amagezi ag’omu mutwe, n’empisa ennungi ez;obugunjufu.
Y’ategeezezza nti olw’ensomesa ennungi eya Babbulaaza b’e Kisubi, Uganda Martyrs High School Lubaga esobodde okufulumya abantu ab’omugaso, abateekeddwateekedwa obulungi, abagasa abantu mu ggwanga lino, n’enssi yonna.
“Buli wonna w’olaga, mu bitongole ne woofiisi ez’enjawulo, osanga abantu abaasomerako mu ssomero lino.
Twebaza Babbulaaza b’e Kisubi olw’omulimo omulungi. Ssabasumba Paulo Ssemogerere musanyufu nnyo era asuubizza nti ajja kwongera okukolagana nammwe obulungi,” Fr Male bweyategeezezza.
Fr Male yeebazizza abazadde olw’okufuba okuweerera abaana baabwe. Abayizi y’abakuutiridde obutalabankana, essira lyonna baliteeke kumisomo gyabwe, basobole okubeera obulugi mu maaso.
Ssenkulu wa Babbulaaza, Bro. Casio Aizire y’asanyukidde nnyo enkulaakulana etuukiddwako essomero lya Uganda Martyrs High School Lubaga, lyeyagambye nti ly’erimu kumasomero gaabwe gebasinga okwenyumiririzaamu.
Okusabira abayizi
Headmasita Bro. Herman Tamale y’ategeezezza nti omutindo gw’essomero lino gw’ongedde okulinnya muby’enjigiriza n’ebitone.
Omukolo gw’abadde ku ssomero e Lubaga (mu Gombolola y’e Lubaga) ku Lwomukaaga nga July 5, 2025.
Mumukolo guno, Cansala Male y’awadde abayizi 42 Essakramentu lya Confirmansio, n’atongoza n’abakulembeze b’abayizi abaakalondebwa. Y’akwasiza n’abayizi abaayitira waggulu ennyo ebigezo bya ssiniya ey’omukaaga ebirabo byabwe. Abayizi baayolesezza byebayiga nebyebakola.
Omukolo gwetabiddwako ne Fr. Dr. John Bosco Ssettumba akola mu Wofiisi y’Eby’enjigiriza ey’Essaza ekkulu ery’e Kampala, omulyoyi w’emyoyo gy’abayizi mu ssomero lino Fr Joseph Balikuddembe, n’omumyuka wa Bwanamukuilu wa Lutikko y’e Lubaga, Fr John Mary Walugembe.