Omuwendo gw'abantu abalumiriza kkampuni ya Skypin tours and travel okubanyagako ssente gusukka mu 350.
Kigambibwa nti abadde akulira kkampuni eyo Don Chris, yanyaga ku bantu ensimbi eziri mu kawumbi kamu n'obukadde 750 era nga mu kiseera kino, tamanyiddwako mayitire.
Kigambibwa nti eyo gyasinziira okuweereza obutambi obuvuma n'okuvvoola be yaggyako ssente nga kw’agasse okubawemula n'okubatiisatiisa.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, ategeezezza nti bano yabanyaga ng'abasuubiza emirimu e Canada, America, Dubai n'awalala, ng'anaabamu yabasaba okusasulako ekitundu.
Kigambibwa nti bano, baasasula ssente eziri wakati w'obukadde 3.5 ne 10.