Poliisi ekutte abasajja 2 abagambibwa okuwamba abagwira ne bakanda ffamire zaabwe ssente

Abantu babiri abagambibwa okuwamba bannansi b'eggwanga lya Pakistan babiri ne basaba ab'enganda zaabwe obukadde 20, poliisi ebakutte.

Poliisi ekutte abasajja 2 abagambibwa okuwamba abagwira ne bakanda ffamire zaabwe ssente
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #Ffamire #Poliisi #Basajja #Kukwata #Bantu #Kuwamba

Abantu babiri abagambibwa okuwamba bannansi b'eggwanga lya Pakistan babiri ne basaba ab'enganda zaabwe obukadde 20, poliisi ebakutte.

Bino, bibadde ku kyalo Mabanda mu muluka gwa Piida e Luweero, abazigu bana nga batambulira mu mmotoka nnamba UAM 180R Premio, bwe bawambye Abaasi Ali ne Rashid Ahmed nga bakozi ba Lucky Sajid musingansimbi Omupakistan.

Kigambibwa nti bwe baabawambye okuva e Luweero, baabavuze okutuuka ku Kansagati Matugga Road,  ne batandika okubakanda ssente.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango agambye nti Flying squad ng'eri wamu ne poliisi e Matugga basobodde okukwatako babiri, abalala ne badduka era abawambe ne babanunula. Okubuuliriza kuli mu jjiya.