ABANTU 8 balumiziddwa n'ebintu omuli emmotoka ne byonoonebwa n'okuzookya wakati w'abawagizi b’abeesimbyewo mu kamyufu ka NRM okulwanagana e Namutumba.
Poliisi ekutte abantu musanvu abagambibwa okubeera amabega w'effujjo lino n'okukuba abantu era nga waliwo n'ebiso, enkumbi n'emiggo, ebyasangiddwa n'abamu ku bakwate.
Okulwanagana kuno, kwabadde wakati w'abawagizi ba omubaka wa Busiki ,Paul Akamba ne Joel Azaalwa gwe bavuganya naye mu kitundu ky'e Bubutya mu ggombolola y'e Lulange e Namutumba.
Emmotoka ssatu zaayokeddwa , ebipande ne babiyuza, n'ebintu ebiwerako ne babyonoona era ng'abakwatiddwa bagenda kuvuunanibwa olw'efujjo n'okulumya abantu.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East Micheal Kafaayo, ategeezezza nti oluvannyuma lw'okugumbulula abawagizi, abeesimbyewo, poliisi yabawerekedde paka okubatuusa ewaabwe ng'okubuuliriza bwe kugenda mu maaso.