OMUGAGGA Christine Asiimwe amanyiddwa nga Don Chris yafulumye eggwanga ng'ayitira ku nsolo ya Uganda ne Kenya e Malaba.
Omwogezi wa minisitule y'ensonga z’omunda Simon Mundeyi ,agambye nti yafuluma nga June 28 2025.
Kigambibwa nti Don Chris ng'ayita mu kkampuni ye eya Skypin Tours and Travel, yanyaga Bannayuganda abawera 900 ensimbi eziri mu buwumbi n'abalangira obujega n'okubawemula wakati mu kubakudaalira.
Abamu ku bantu abagambibwa okuferebwa
Yabaggyako ssente eziri wakati w'obukadde 3 okutuuka ku Bukadde 20 ng'abasuubizza okubafunira emirimu mu USA , UK, Canada, Dubai n'awalala era nga kigambibwa nti n'abamu , baatunda nga byabwe, okusobola okufuna ssente.
Mundeyi ategeezezza nti kkampuni eyo, yatwalako abantu musanvu bokka e Netherlands ne Dubai, abalala ne basigala ku munaabo , era kwe kusalawo ensonga okuzikwasa CID ne minisitule ne batandika okumunoonyerezaako.
Agasseeko nti ku bantu bano, abasoba mu 200 be baasasula obukadde 20 buli omu , nga baagala okubatwala mu Canada, bakube ekyeyo nga babasuubizza omusaala omusava.