EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku kufulumya pasopoota, kitubidde n'endala 1,500 ezaazziddwa mu minisitule y'ensonga z’omunda okuva mu embase ez'enjawulo.
Ezimu ku Embassy ezazizza pasipoota zino, kuliko ey'eggwanga lya Amerika, Turkey,China , UK n'awalala nga n'ezimu zikyalimu viza ezitannaggwaako.
Paasipooti eziriko nga bwe zifaanana.
Kigambibwa nti pasipooti zino, zaaliba nga zaatwalibwayo amakampuni agatwala abantu ebweru ne bazirekayo oluvannyuma lw'okuziggya ku bannannyini zo.
Omwogezi wa minisitule y'ensonga ez’omunda mu ggwanga Simon Mundeyi, ayise abantu okugenda ku minisitule balabe oba kuliko ezaabwe.
Annyonnyodde nti pasipooti endala 42,000, zaasabibwa bannyini zo ne batazikimayo okuva ku matabi ag'enjawulo okuli ery’e Mbarara, Lira, Masaka, Fortportal , Mbale, Masindi ne Kyambogo era nga nazo, zoolekedde okwokebwa.
Kinajjukirwa nti omwaka oguwedde, paasipoota eziwera 60,000 zaayokebwa oluvannyuma lw'okubulwako bannannyini zo.