Ian kyeyune awangudde akamyufu ka NRM e Wakiso n'awaga

E Wakiso eyaliko ssentebe wa disitulikiti ye Wakiso Eng. Ian Kyeyune yawangudde akamyufu ku kifo kye kimu nga kati yagenda okukwatira NRM bbendera mu kulonda kwa bonna ku kifo kya ssentebe wa disitulikiti mu 2026.

Ian Kyeyune ng'awaga
By Peter Ssaava
Journalists @New Vision
E Wakiso eyaliko ssentebe wa disitulikiti ye Wakiso Eng. Ian Kyeyune yawangudde akamyufu ku kifo kye kimu nga kati yagenda okukwatira NRM bbendera mu kulonda kwa bonna ku kifo kya ssentebe wa disitulikiti mu 2026.
 
Kyeyuna yabadde avuganya n'abantu 4 kyokka ng’embilanye yabadde wakati we ne Patrick Nakabaale eyaliko omubaka w’abavubuka mu Buganda. Kyeyune yafunye obululu 58,648 ate Nakabaale nafuna obululu 50,321.
 
Shaban Kawooya akulira eby’okulonda mu NRM mu disitulikiti ye Wakiso yategeezezza nti okulonda ku mulundi guno kwatambudde bulungi mu ggombolola 27 ezikola disitulikiti era nti tewaabaddewo mbeera yabululu butadda.
 
Kyokka mu kusooka, waabaddewo okukyanga obululu okuva mu bakulira eby’okulonda e Busiro North, Kyaddondo East ne Nansana Munisipaali era kino kyaatutte essaawa 2 nga bali mukwetegereza era nekiterezebwa.
 
Kyeyune yategezezza nti obumanyirivu bwalina mubukulembeze ssaako omukululo gweyareka agenda kwongerako bwongezi olwo disitulikiti eyongere okuyitimuka okusinga bweyagireka mu 2011.