Omusumba Umar Mulinde alangiridde okusiguukulula Patrick Nsamba

OMUSUMBA Umar Mulinde owa Gospel Life Church International eye Namasuba alangiridde nga bwagenda okwesimbawo ku kifo kyomubaka wa palamenti ekye Kassanda North awabadde  Patrick Nsamba Oshabe owa NUP eyawangula okulonda kwa 2021.

Musumba Mulinde ng'ayogera eri abantu
By Julius Kafuluma
Journalists @New Vision

OMUSUMBA Umar Mulinde owa Gospel Life Church International eye Namasuba alangiridde nga bwagenda okwesimbawo ku kifo kyomubaka wa palamenti ekye Kassanda North awabadde  Patrick Nsamba Oshabe owa NUP eyawangula okulonda kwa 2021.

Mulinde bino yabirangiridde nga asinziira ku mukolo gw'okwebaza katonda olw'obulamu bwe n'okukulisaayo nyina Joweria Namugga okuva mu ggwanga lya saudi Arabia gyeyamutwala okukola Hijja nga akabonero akokumwebaza olw'okumujanjaba.
Musumba Mulinde ng'ayogera eri abantu

Musumba Mulinde ng'ayogera eri abantu

 
Mulinde ajjukirwa nnyo bweyakoma ku mugo gwentaana mu mwezi gwa December 2011 abantu abataategeerekeka bwebaamulondoola ne bayiira Acid bweyali ava ku kkanisa ye esangibwa e Namasuba okubuulira enjiri.
 
Omukolo guno gwategekeddwa ku kyalo Bweyongedde ekisangibwa mu Gombolola ye Kalwana mu district ye Kassanda. 
 
Gwetabiddwako abakulembeze bamadiini abenjawulo omwabadde ne sheik Zakalia Kyewalyanga akulira Humura ne Hijja mu uganda, Ababuulizi benjiri mu nzikiriza yabalokole nabalala.
 
Yabuulidde abalonzi mu kitundu kino nga bwazze okugatta abantu be Kassanda abayawuddwayawuddwa olwamawanga nediini “ sigenda kubagatta kulwanyisa gavumenti, njagala tukole ebyobufuzi ebirimu ebyenfuna, ebyenjigiriza nwbyobulamu.
 
Sheik Zakalia Kyewalyanga yatemderezza mulinde olwokuzimbira ekitundu kye essomero erigenda okugasa abaana bonna awatali kusosola.
Musumba Mulinde ng'annyonnyola abantu ebiruubirirwa bye

Musumba Mulinde ng'annyonnyola abantu ebiruubirirwa bye

 
Ssentebe wa LC1 ku kyalo Bweyongede steven ssekonge yayogedde ku bizibu byekitundu kyabwe omuli ebbulya lyamasannyalaze, amazzi nenguudo embi nga ebimu ku bizingamizza enkulakulana yekitundu kyabwe.
 
“ Mulinde mukulembeze wa njawulo nnyo, yatuzimbidde essomero lya Nursery ne Primary ku seente ze ate nga bamulekwa nabo abakwasizaako nga ayita mu sikaala zaagaba”.
 
Mulinde waviiriddeyo nga ne Kamulegeya kyaggye aweebwe kaadi yekibiina kya ekiri mu buyinza ekya NRM naye eyeesowoddeyo okuggyayo munna NUP Patrick Nsaba Oshabe.
 
Mulinde talina kibiina kyagyiddemu nga amaanyi ge gamuli mu njiri gyazze abuulira nobumu ku buweereza bwazze atuusa ku bantu ku kitundu kweyakulira.