Amasasi ganyoose ku kitebe kya NRM e Lubaga nga balangirira ebyavudde mu kalulu

EMBEERA ku kitebe kya NRM e Lubaga mu kiro ekikeesezza leero ebadde ya bunkenke, poliisi bwewandagazza amasasi enfunda ng’egezaako okugumbulula abaabadde besimbyeewo n’abawagizi babwe bakira abaagala okunyakula empapula z’abaddeko ebyavuddemu kulonda eby’enkomeredde bye baabadde batakaanya.

Akavuvungano akaabadde ku kitebe kya NRM e Lubaga
By Patrick Kibirango
Journalists @New Vision

EMBEERA ku kitebe kya NRM e Lubaga mu kiro ekikeesezza leero ebadde ya bunkenke, poliisi bwewandagazza amasasi enfunda ng’egezaako okugumbulula abaabadde besimbyeewo n’abawagizi babwe bakira abaagala okunyakula empapula z’abaddeko ebyavuddemu kulonda eby’enkomeredde bye baabadde batakaanya.

Emivuyo egy'abadde mu kubala obululu e Lubaga

Emivuyo egy'abadde mu kubala obululu e Lubaga

Ebyavudde mu kulonda eby’enkomeredde e Lubaga ko n’ebyekifo kya loodi meeya byakoleddwa ku kitebe kya NRM mu Lubaga ekisangibwa e Mengo okupi ne Masengere.

Ekifo ky’obwa loodi meeya kiwanguddwa Mahad Kaweesa n’obululu 45,695, Moses Kizito Nsubuga kyakubiri n’obululu 43,505, Thadeus Musoke Nagenda ssentebe wa KACITA ky’akusatu n’obululu 27,095, Bob Paul Mpiima wakuna n’obululu 3260 n’abalala ne bagoberera.

Wabula bano nga tebanaba kulangirirwa wasooseeewo okulangirira ba kansala ba diistulikiti abakiika obutereevu ku KCCA nga wano amasasi ganyoonyese olw’abamu ku baabadde b’esimbyeewo n’abavubuka be baabadde bazze nabo okwagala okulemesa okulangirira okugenda mu maaso nga bagamba nti ebibadde birangirirwa bibadde bya mankyoolo.

Poliisi okukakkanya ekubye amasasi mu ttaka n’okukwata abamu ku babadde besimbyeewo.

Obunkenke obwabadde mu kubala obululu ku kitebe kya NRM e Lubaga

Obunkenke obwabadde mu kubala obululu ku kitebe kya NRM e Lubaga

Kwo ku kifo ky’agenda okukwatira NRM bendera ku meeya wa Lubaga Charles Ssemwogerere awangudde n’obululu 18,660, Dirisa Kasalirwe wakubiri n’obululu 4907 ate Daniel Davis Mutabaazi wakusatu n’obululu 27,941.

Ku bifo by’obwa kansala abaawangudde mu lubaga (abaami); Bonny Kabugo okukiikirira NajjaI, NajjaII, Kabowa, Mutundwe ne Nateete, Keneth Male okukiikirira Rubaga, Ndeeba, Namirembe Bakuli ne Busega, Ronald Mbaziira agenda kukiikirira Lubya,Kasubi  ne Nakulabye.

Abakyala;Prossy Najjita agenda kukiikirira Lubya,Kasubi  ne Nakulabye,Prossy Nakacwa agenda kukiikirira Rubaga, Ndeeba, Namirembe Bakuli ne Busega.

Kato yategeezezza nti okulangirira obululu kwatambudde bulungi okujjako abantu abaleseewo okwagala okukyankalanya olw’okubanga baabadde basuubira nti akalulu bayinza okukakyusizza ku kifo webalaangiririra.