Amakolero okubulwa ebyuma ebizikiza omuliro kyennyamizza poliisi

Poliisi eraze obwennyamivu olw'abannamakolero n'abasuubuzi ab’enjawulo okubulwa ebyuma ebizikiriza omuliro.

Amakolero okubulwa ebyuma ebizikiza omuliro kyennyamizza poliisi
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Amawulire #Muliro #Poliisi #Kuzikiza

Poliisi eraze obwennyamivu olw'abannamakolero n'abasuubuzi ab’enjawulo okubulwa ebyuma ebizikiriza omuliro.

Poliisi egamba nti abamu ababirina, tebikola biringa bifaananyi so ng'ate amakolero n'amakampuni gyebiri nga biramu, tebayigiriza bakozi ngeri yaakubikozesa.

Kino kiddiridde omuliro okukwata ebifo ebiwerako mu wiiki ewedde okuli Hima Cement factory e Kaseese, sitoowa omuterekebwa ebintu e Kisugu Makindye , e Hoima n'awalala ebintu ebiwerako ne bisaanawo.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, agambye nti abamu tebalina bifo omuva amazzi, nga n'abalala tebalina makubo olw'omugotteko.

Ayongeddeko nti abakozi balina okwongera okubabangula ku nsonga y'omuliro.