Mukyala Museveni atongozza obutabo ku nkuza y'abaana

MUKYALA Museveni atongozza obutabo obuyambako ku ng’unjula y’abaana ne yeeyama obukadde 50 buyambeko mu kuvvuunula ebiri mu butabo bizzibwe mu nnimi ennansi.

Mukyala Museveni atongozza obutabo ku nkuza y'abaana
By Sharon Nabasirye
Journalists @New Vision
#Amawulire #Baana #Butabo #Nkuza #Kutongoza #Museveni

MUKYALA Museveni atongozza obutabo obuyambako ku ng’unjula y’abaana ne yeeyama obukadde 50 buyambeko mu kuvvuunula ebiri mu butabo bizzibwe mu nnimi ennansi.

Yabadde mu lukung’aana lw’okusomesa abazadde ku ng’unjula y’abaana etuumiddwa ‘Maama Tendo Parenting Symposium’ ku kisaawe e Kololo.

 

Akulira ekibiina kya ‘Maama Tendo Foundation,’ Catherine Ruhweza agamba Maama Tendo yatandika emyaka 25 egiyise ng’akyali mukozi mu kkampuni ya New Vision era nga kyava ku mukung’aanya w’amawulire ow’oku ntikko, Barbara Kaija eyamukkiririzaamu okutandika olugendo luno okutuusa kati.

Agamba nga ekibiina, bakola n’abakyala abalina obwetaavu 200 mu kitundu kya Katanga.

Agamba baatuukirira ffamire 100,000 buli mwaka nga beeyambisa emikutu emigatta bantu omuli abazadde abakola, abasuubira okuzaala, abayonsa okubazzaamu amaanyi n’abalala.

Agamba nga ekibiina bongeddemu abaami mu nteekateeka ya Maama Tendo kuba we batali kireetera abaana abato okwenyigira mu misango, okukabassanyizibwa, abawala okufuna embuto nga bato n’ebirala.

Agamba abazadde balina okubeererawo abaana nga bavubuka babayambeko okutegeera enkyukakyuka ezibeera mu mibiri gyabwe ng’era omwaka guno batambulidde ku mulamwa ogugamba nti, okwenyigira kw’abazadde mu nkuza y’abaana okubasomesa ekikula kyabwe n’embeera y’abaana ennungi’.

Barbara Kaija asiimye mukyala Ruhweza olw’obutabo bwe yawandiise n’asaba abasomesa okubunoonya kuba bulungi eri abaana, abazadde n’abasomesa bonna.

Asiimye abantu sekinnoomu abavuddeyo okukomya ebivve ebikolebwa ku baana n’akubira omulanga bannansi bonna okuba abasaale mu nkuza y’abaana ennung’amu.

Mukyala Museveni asiimye mukyala Ruhweza wamu n’omwami we okuvaayo n’enteekateeka bw’eti mu Uganda kubanga abakyala bangi obuzadde n’okukuza abaana tebakitwala nga mulimu.

Agamba wadde ng’amawanga agamu gasasula abakyala emisaala egy’okukuza abaana, mu Uganda tekinnatuuka wabula ng’asaba olunaku lumu abakyala bonna abatakola batandike okusasulwa ensimbi egy’okulera abaana kuba nagwo mulimu.

Agamba waliwo ekizibu ekyabaluse mu baana baabwe lwe bakosebwa endwadde y’ebiroowoozo n’ennyiike n’asaba abazadde okufaayo ennyo ku nneeyisa y’abaana baabwe okusobola okukitaakiriza. 

Asabye bannadiini okuvaayo nga babunyisa enjiri y’enkuza y’abaana ennungi nga babuulirira abazadde.

Atongozza obutabo bwa Maama Tendo era ne yeeyama okuwaayo obukadde 50 buyambeko okuvvuunula ebiri mu butabo buzzibwe mu nnimi ennansi ez’enjawulo. Asabye abazadde okubweyambisa.

Mukyala Museveni asomedde abaana akatabo era oluvannyuma n’asala keeki Maama Tendo gye yamutegekedde ng'ekirabo ky’amazaalibwa ge ag’emyaka 77.