EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya Uganda National Examinations Board (UNEB) kiwandiise abayizi 1, 415, 000 okutuula P7, S4, ne S6 ebyakamalirizo eby’omwaka 2025.
Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa UNEB nga kiteereddwaako omukono akikulira, Dan Odong kiraga nti ku mulundi guno, omuwendo gw’abayizi abagenda okutuula ebigezo gweyongeddeko 96,718 (ebitundu 6.8%).
Odong Ng'annyonnyola.
Mu 2024 abeewandiisa okutuula awamu baali 1,319,139. Ku Lwokuna nga July 31, 2025 lwe lwasembyeyo eri abakulira amasomero aga Pulayimale ne siniya n’ebifo we batuulira ebigezo okuwandiisa abayizi.
Oluvannyuma lw’okuwandiisa, abakulira amasomero balina okutimba enkalala z’abayizi ku masomero, basobole okukebera amannya gaabwe bakakase nti bagenda kutuula ebigezo n’okumanya oba bye baawaayo
bye bituufu era nga UNEB nneetegefu okuwa omukisa abayizi okuweereza obubaka ku ssimu basobole okumanya oba beewandiisa.
Abalina kye beebuuza n’okulung’amizibwa basabiddwa okutuukirira UNEB ku 041 777 3100, nga yakusasulira oba 0800211077 eteri ya kusasulira.