Kitalo! Abasuubuzi b'omu katale abawera 19 kigambibwa nti bafiiridde mu kabenje akagudde e Hoima n'abalala abawerako 13 ne batuusibwako ebisago.
Akabenje kagudde kumpi n'essomero lya Hillside SS Kigorobya ku Hoima - Buliisa Rd, loole Fuso kwe babadde batambulira nga bava mu katale ka Buliisa Auction Market bw'egudde ne yeefuula ku ssaawa nga ttaano ekiro.
Kigambibwa nti loole eno nnamba UBB 639 W eremereddwa okulinnya akasozi n'edda emabega n'egwa ne yeevulungula emirundi egiwerako.
Okusinziira ku mwogezi wa Poliisi mu Albertine, Julius Allan Hakiza agambye nti emirambo gitwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Hoima ng'okunoonyereza bwe kukolebwa