EBIKONGE byeyiye mu kkanisa ya All Saint’s e Nakasero mu kusabira muwala w’omulamuzi wa kkooti enkulu ewozesa emisango gya bakalintalo (International Criminal Division) Thelma Abonyo Hatanga 26, eyafiira mu Yitale gy’abadde asomera obusawo.
Baakulembeddwaamu Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo, minisita w’ensonga za ssemateeka Nobert Mao, Ssaabawabi wa gavumenti, Jane Frances Abodo, abalamuzi ku mitendera egy’enjawulo, abakungu ba gavumenti abooluganda n’emikwano abajjuzza lutikko.
Okusabira omugenzi kwakulembeddwaamu Rev.Can. Dr. Ebong Oming ng’ayambibwako Rev. Paulson Tumukyereze nga bano basabye abantu bulijjo okukomya okwemulugunya nga bafiiriddwa kubanga Katonda y’amanyi olugendo lwa buli muntu ku nsi.
Ssaabalamuzi Dollo yagambye nti kiruma abazadde okuziika abaana baabwe kubanga be balina obuvunaanyizibwa bw’okutwala mu maaso obuvunaanyizibwa bw’abazadde.
‘’Singa Katonda amanyi obulumi bwe tuyitamu nga tufiiriddwa abaana baffe, yandibadde akyusaamu, tusaba atuwe ekisa abaana baffe batuziike ffe tuleme kubaziika’’ Dollo bwe yategeezezza Yasabye Bannayuganda okukomya omuze gw’okukopperera ennono ezitali za buwangwa naddala eky’okubikkula emirambo mu lujjudde.
Maama w’omugenzi Juliet Harty Hatanga yawakanyizza ekya muwala waabwe okwetta nga bwe byogerwa ku mikutu egy’enjawulo n’emitimbagano, n’asaba alina obukakafu ku nsonga eno okuvaayo n’obujulizi.
Ye taata w’omugenzi, Dr. Peter L.Ogwanga yeebazizza bonna abababeereddewo kyokka n’asaba abakungubazi okubawa akaseera okukungubagira omwana waabwe awatali kulaba ku mulambo gwe kubanga bagubawadde teguli mu mbeera nnungi. Abonyo yafiira mu Italy nga June, 30 omwaka guno ng’omulambo gwe gwakomezebwawo mu ggwanga ku Ssande nga August 3, 2025.
Minisita w’ensonga za ssemateeka Nobert Mao yeeyamye nti gavumenti ng’ekolagana n’eya Yitale bagenda kukola kyonna ekyetaagisa okutuusa ng’amazima gavuddeyo ku nfa ya Abonyo.
Bato b’omugenzi n’emikwano gye bamwogeddeko ng’abadde