Abasibe balwanidde mu kkomera omu n’atta munne

OMUSIBE abadde yaakasingisibwa omusango gw’okutemula nnyina, alwanidde mu kkomera n’atta musibe munne abadde yasingisibwa ogw’okusobya ku mwana atanneetuuka.

Abasibe balwanidde mu kkomera omu n’atta munne
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMUSIBE abadde yaakasingisibwa omusango gw’okutemula nnyina, alwanidde mu kkomera n’atta musibe munne abadde yasingisibwa ogw’okusobya ku mwana atanneetuuka.
Bino bibadde mu kkomera ly’e Masindi, Anatoli Irumba ali ku musango gw’okutta maamawe bwe yakkakkanye ku Moses Tuhame ali ku gw’okusobya ku mwana atanneetuuka n’amukuba bubi ekyamuviiriddeko okufa nga yaakatuusibwa mu ddwaaliro e Masindi.
Omwogezi w’amakomera, Frank Baine, yagambye nti ebisago eby’amaanyi ebyatuusiddwa ku Tuhame mu kulwanagana bye byamuviiriddeko okufa.
Baine yagambye nti oluvannyuma lwa poliisi okukola okunoonyereza munda mu kkomera lino, n’okwekebejja omulambo, gujja kuweebwayo eri abooluganda lwe bamuziike.
Ate ye Irumba enteekateeka zaatandise dda n’okumunoonyereza okulaba ng’avunaanibwa omusango omulala ogw’obutemu