GGOMBOLOLA ya Ssaabasajja eya Mutuba III Makindye-Kibuga etongozza enteekateeka y’okunoonya obukadde bw’ensimbi 200 ez’oluwalo lw’Obwakabaka bwa Buganda.
Omwaka oguwedde ggombolola eno yatwala oluwalo lwa 114,000,000/- era nga ye yasinga mu Makindye.
Oweggombolola Hajji Ssemambo Musa Musoke yagambye nti; “Tetulina kuddirira, tulina okwekuumira ku ntikko”. N’agattako nti bajja kufiirawo okulaba nga obuwanguzi Makindye ebutwala.
Omukolo gw’okutongoza Oluwalo 2025 gwabadde mu muluka gwa Katwe I mu katale nga gwakuliddwaamu omumyuka w’oweggombolola, Rotarian Lubowa Francis Anthony n’akulira enteekateeka eno, Henry Ssennyondo ku Lwokutaano.
Abasuubuzi, abatemi b’ennyama, abatunzi b’ennyaanya, ab’omulondo n’ebibiina by’obwegassi baaguze satifikeeti za 1,500,000/-.
Omumyuka w’oweggombolola Rtn. Lubowa yakubirizza Bannakatwe okwongera okuwagira Obwakabaka bwa Buganda nga beenyigira mu mirimu n’ebikolebwa.
Yagambye nti Buganda tesolooza misolo naye abantu bwe bawagira nga bagula satifikeeti zino, Gavumenti ya Kabaka etambula bulungi ate ne Kabaka waffe n’abeera bulungi.
Yagambye nti ssente zino bwe zikung’aanyizibwa, Ssaabasajja akolera abantu ebintu nga; okuzimba amalwaliro, enzizi n’ebirala.
Makindye erina emiruka 20 buli gumu gwakutunda satifikeeti za bukadde 10 okusobola okuweza obukadde 200.