Obulabirizi bwa Ankole butongozza abakebezi

OBULABIRIZI bwa Ankole butongozza abakebezi abapya oluvannyuma lw’ekisanja ky’ababaddeko okuggwaako.

Abamu ku bakebezi abaatongozeddwa.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OBULABIRIZI bwa Ankole butongozza abakebezi abapya oluvannyuma lw’ekisanja ky’ababaddeko okuggwaako.
Abakebezi abatongozeddwa bawera 32 era nga baweerereza mu Lutikko ya St. James. Omukolo gw’okubatongoza gwakoleddwa ddiini wa Lutikko, Ven. Bobs Nathan Mwesigwa ng’ayambibwako akulira ebyensoma mu ttendelero lya Bishop. Stuart University, Rev. Can. Asaph Kabakyenga
Omukolo ogwabaddewo ku Ssande gwasoose n’abakebezi okukuba ebirayiro, era olwamalirizza ne bakwasibwa amabaluwa agabakkiriza okukola omulimu guno.
Abakebezi abaatongozeddwa baakuweereza mu kusaba okubeerawo mu Luzungu ssaako okubaawo mu Runyankole.
Bwe yabadde abakubisa ebirayiro, Ven. Mwesigwa yabasabye okubeera n’omutima oguweereza Katonda nga bwe balondeddwa ate nga bakkirizza okukola omulimu guno. Rev. Can. Kabakyenga eyabuulidde yategeezezza nti obuweereza kitone okuva eri Katonda.