ABANTU abatannamanyika basazeeko omwana omuwere omutwe, ekiwuduwudu ky'omulambo gwe, ne bakisuula mu kitoogo.
Ekiwuduwudu ky'omwana ono nga muwala, kisangiddwa mu kitoogo kya Ziribanda mu Lubanja LC1 mu Ggombolola y'e Busimbi e Mityana, era nga tekinnamanyika bimukwatako mu kitundu ekyo.
Ekiwuduwudu kino, kibadde bwereere nga tekuli ngoye, era nga kisuubirwa nti baliko ekifo ekirala , gye baamutidde, omulambo ne bagusuula awo.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala , Recheal Kawala, agambye nti, omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaliro e Mityana era n'asaba oyo yenna ayinza okuba n'amawulire okuzuula abatemu, ategeeze poliisi.