POLIISI etiisizza okukwata n'okuvunaana abalina ebidiba ebiwugirwamu mu masomero ne mu bifo ebikyakalirwamu nga tebagoberera biragiro.
Abantu abalina ebidiba bino, balina okubeera n'abantu abakugu mu kuyamba ababeera babbidde mu mazzi.
Poliisi egamba nti abamu ku baddukanya ebidiba bino, abantu be bassaawo okuyamba, babeera bakibogwe nga n'abalala beemalira ku kutendeka bawuga, okusinga okubataasa nga wabaddewo obuzibu.
Bateekeddwa okussa kamera mu bifo ebyo okuyambako okumanya ebigenda mu maaso, okubeera n'ebintu ebiyamba okukuuma obulamu bw'abo a bawuga.
Mu ngeri y'emu era wateekwa okubaawo amateeka agalambika abantu abalina okubeera mu kidiba ekyo n'obudde bwe bwalina okuviiramu n'obukuumi obwenjawulo.
Kidiridde omwana Kevin Nsamba, okufiira mu kidiba ky'essomero lya Seeta High mu wiiki ewedde era ng'omuntu omu yakwatiddwa ku nsonga eno ng'okunoonyereza kukolebwa.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, ategeezezza nti, bagenda kukola ebikwekweto mu masomero, woteeri n'ebifo ebisanyukirwamu omuli ebidiba ebiwugirwamu kyokka ng'ababiddukanya tebagoberera biragiro