Amasomero ga Uganda galumbye Kenya mu mizannyo gya East Africa

Ssaabawandiisi w'akakiiko akafuga emizannyo mu ggwanga aka NCS Dr Bernard Ogwel asuubizza okutwala tiimu ya Uganda ew'omukulembeze w'eggwanga abasiime mu ngeri ey'enjawulo singa baddamu ne bawangula empaka z'amassomero ga siniya ezigenda okutojjera mu kibuga kakamega ekya kenya. 

Abaana nga babasimbula
By Julius Kafuluma
Journalists @New Vision

Ssaabawandiisi w'akakiiko akafuga emizannyo mu ggwanga aka NCS Dr Bernard Ogwel asuubizza okutwala tiimu ya Uganda ew'omukulembeze w'eggwanga abasiime mu ngeri ey'enjawulo singa baddamu ne bawangula empaka z'amassomero ga siniya ezigenda okutojjera mu kibuga kakamega ekya kenya.

Ogwel wabula abakuutidde okukuuma empisa okusobola okukuumira bendera ya Uganda waggulu mu byemizannyo.
Abaana nga basimbula

Abaana nga basimbula

 
“ Gavumenti esoosowazza nnyo eby'emizannyo naddala mu massomero ng'eyita mu USSSA kyemuva mulaba nga ennaku zino tusiibula tiimu za Uganda nyingi okugenda okukiikirira eggwanga mu mawanga agenjawulo nga bangi ku bano bava mu massomero gano”.
 
Ekitongole ky'ebyemizannyo mu ministry yebyenjigiriza kyekisinga okufuna ensimbi mu budget yebyemizannyo nga buli mwaka kiweebwa  obuwumbi 16 wabula nga ku zino obuwumbi musanvu buweebwa USSSA okutegeka emizannyo gya secondary.
 
Uganda bebannantameggwa bempaka zamassomero ga secondary okuviira ddala mu 2019 nga baagala kuwangula mpaka zino omulundi ogwokutaano ogwomuddiringanwa.
 
Mu mpaka ezigenda okutandika wiiki eno e kenha Uganda etutte amasomero ga siniya 66 naga primary 11 nga okugatte abayizi 1582 bebagenda okukiirira Uganda mu mizannyo egisoba mu 20.
Dr Ogwel ng'asimbula abaana

Dr Ogwel ng'asimbula abaana

 
President wekibiina ekiddukanya emizannyo gya secondary Justus Mugisha  asabye ministry yebyenjigiriza okussa amanyi mu mizannyo gyamassoemero ga primary gasobole okuliikiriza aga secondary. 
 
Wabula Mugisha alabudde amassomero agasuubira okukozesa abacuba obutakigeza kuba bajja kubagoba mi mpaka.
 
Commissioner mu ministry yebyenjigiriza Sam Odong akkiriza okutwala omulanga gwa Mugisha nga baakutuuka ne ku mutendera gwa university.
Emizannyo giggulwako akawuuwo ku lwokuna law wiiki eno gikomekkerezebwe nga 23 omwezi guno.