BANTU abaasinze okufiira n'okukosebwa mu bubenje obwaguddewo wiiki ewedde, baabadde bavuzi ba pikipiki , abasaabaze ku pikipiki n'abatambuza ebigere.
Bano , baakoze ebitundu 70 ku buli kikumi ku bubenje obwabaddewo nga kyavudde ku ndiima n'okuyisiza mu bifo ebikyamu , ng'omwogezi wa poliisi y'ebidduka Micheal Kananura, bw'annyonnyola.
Mu bumu ku bubenje bw'anokoddeyo , mwe mwabadde aka loole omwaafiridde abasuubuzi 19 e Hoima, akalala omwafiiridde abantu basatu ku pikipiki ku luguudo lwa Kazo - Kiruhura era n'ategeeza nga ne dereeva wa bus eyakoze okabenje omwaafiridde abaana babiri, naye bwe yakwatiddwa ng'okunoonyereza kukolebwa