SUZAN Kushaba eyali akulira akatale ka ST. Balikudembe era nga’ayagala kubeera mubaka wa palamenti owa Kampala 2026 -2031 ajunye abakozi mu kitongole kya 7hills abalongoosa e kibuga n’ebikozesebwa okuli giraavuzi peya 50 ne buutusi peya 50.
Kusaba bano abibakwasirizza ku mwala gwa Musajjaalumbwa w’abasanze nga bagugogola wabula embeera gy’abasanze bakoleramu nga tematiza olw’obutaba na bibakuuma nga bakole emirimu naddala giiraavuzi.
Suzan Kushaba ng'awaayo ebikozesebwa
Kushaba anyonnyodde nti azze ng’angobere embeera abakozi abalongoosa Kampala gyebakolereramu ey’obugubi bw’obutaweebwa bikozesebwa bimala n’okubeera nga basasulwa buswazzi ate nabwo ne bujja nga kikeerezi.
Agamba nti ng’omubaka wa Kampala addako kimukakatako okubeera eddoboozi ly’a bantu bano okulaba nga bakola omulimu guno nga beeyagaliramu era ye nsonga lwaki atutte ku katono kaalina n’abawa.
Asiimye pulezidenti olw’okuvangayo n’ayamba abantu ba ghetto n’amusaba nti na bano abalongoosa ekibuga betaaga okuyambibwako naddala ng’abateera ssente mu SACCO zabwe bazeewole basobole okubanga bateekawo amakubo amalala agayingiza ssente.
Aba 7Hills nga bayonja omwala
Paul Nyombi omu ku bakulira abakozi mu kitongole kino ekirongoosa ekya 7hills mu KCCA, yategeezezza nti essanyu lye bawulira lya nsusso olw’ebintu ebyabaweereddwa kubanga babadde tebalinaawo.
Mukasa Kavuma naye mukozi ayonja yanyonyodde nti embeera gye bakoleramu nzibu bakwata mu bikyaafu bingi kyokka ng’ebikozesebwa nga giraavu ne buutusi bangi ku bo tebalina n’abatono abalina byakadiwa birimu ebituli era n’asiima Kushaba olw’enkata gye yabakubye n’amusaba agendere awo.