KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asiibye ssaza ly'e Gomba mu nteekateeka y'Emmwaanyi Terimba mwalambulira abalimi n'okubawa amagezi ku nnima ennungamu.
Minisita w'ebyobulimi, obwegassi n'obusuubuzi mu Buganda Hajj Amisi Mukasa Kakomo abuulidde Bukedde ng'enteekateeka eno bwebagitaddemu amaanyi kubanga ly'ekkubo lyokka omugenda Okuyitibwa okuggya abantu mu bwavu.
Hajj Kakomo agambye nti Katikkiro Mayiga n'abakungu abamuwerekeddeko bagenda kutandikira ku kyalo Nakijju okusisinkana abegassi aba Kyegonza Coffee Farmers Cooperative ate oluvanyuma bagende mu balimi abalala.
Abalala abagenda kulambulwa kuliko Nabuufu Mukisa e Kasiba, Edgar Kitayimbwa e Kanoni. Minisita Kakomo akunze abantu okujja obungi okuwulira obubaka Katikkiro bwabetikidde naddala agakwata ku kiragiro Kya Kabaka ekikwata ku Bwegassi