Omutemu eyeewaddeko obujulizi nga bwe yatta muganzi we ne batamukwata omusumba amuyitidde poliisi n'emukwata!

POLIISI ekutte omusajja eyeewuunyisizza ekkanisa, bwe yeewaddeeko obujulizi bw’okutta muganzi we mu loogi.

Omutemu eyeewaddeko obujulizi nga bwe yatta muganzi we ne batamukwata omusumba amuyitidde poliisi n'emukwata!
By Simon Masaaba , Josephat Sseguya ne Stuart Yiga
Journalists @New Vision
#Mutemu #KUtta #Kkanisa #Kukwata #Muganzi

POLIISI ekutte omusajja eyeewuunyisizza ekkanisa, bwe yeewaddeeko obujulizi bw’okutta muganzi we mu loogi.

Clinton Mwesiime kati akuumibwa ku poliisi ya Jinja Road mu Kampala, yawadde obujulizi ku katuuti k’emu ku kkanisa ennene mu Kampala (amannya gasirikiddwa) mu kusaba okwabaddewo ku Ssande ewedde.

Mwesiime Bw'afaanana

Mwesiime Bw'afaanana

Yeesimbye mu maaso g’abagoberezi abaabadde abangi ne yeewaako obujulizi bw’ataasoose kutegeera nti, poliisi yali yabulinda dda ekole ku yazza omusango ogwo.

“Mukama yeebazibwe abooluganda, amannya nze Mwesiime, njagala okubategeeza ekintu kye nakoze gye buvuddeko. Nnina munnange gwe nagenze naye mu loogi. Twakoze bye tukola ne tumaliriza.

Bwe byawedde nakutte ekiso ne mufumitafumita okutuuka lwe yafudde. Nadduseeyo era natolose na butolosi e Kabale nga tewali andabye ne nzija kati ndi Kampala era tewali yankutte.

Okumutta, twasoose kufuna butakkaanya ng’abaagalana era omulambo nagulese mu kasenge ke baabadde batuwadde.” Obwo bwe bujulizi obwaweereddwa Bukedde eggulo kyokka ng’eyabwewaako, yabuwa nga August 10, 2025.

OMUSUMBA AMUYITIRA POLIISI
Kigambibwa nti omusumba mu kkanisa yakubidde poliisi nti waliwo wano omusajja eyeewaddeko obujulizi ku mukyala gwe yattidde mu loogi e Kabale.

Poliisi ya Jinja Road yagenze okukubira poliisi y’e Kabale, yasangiddwa emaze ennaku 13 ng’eyigga omusajja gw’etemanyi na mannya kubanga mu loogi ya Cheers Pub, bino gye byali, omusajja yasangibwa yawaayo amannya makyamu, ng’ekyo kitegeeza nti ne gwe banoonya bulijjo tebamwekakasa.

Obujulizi bwe yeewaddeko, poliisi yeekanze bukwatagana bulungi n’ebyaliwo nga 29 July, 2025 mu kasenge nnamba 7 mu loogi eyo e Kabale.

OMUSANGO KU MUTEMU EYEEWADDEKO OBUJULIZI GUGENDA BWE GUTI;
Okusinziira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Kigezi, Elly Maate, ettemu lino lyaliwo nga July 29, 2025, ku loogi z’oku bbaala ya Cheers Pub, ku kizimbe okwali bbanka ya Equity, mu Central East, mu munisipaali y’e Kabale.

Poliisi yategeezezza nti omugenzi yayingira mu loogi ku ssaawa ssatu n’eddakiika 45, ez’ekiro ng’ali n’omusajja kyokka mu kitabo omukazi yawaayo nti amannya ge ye Allen Orishaba (0770819133), ate omusajja n’awandiisaayo mannya ga Andy Julius, (0708122919) nga balaga nti bombi baali batuuze b’e Katuna, ku nsalo ya Uganda ne Rwanda.

Kyokka enkeera nga July, 30, 2025, ku ssaawa nga ssatu n’eddakiika 51, omukozi ayitibwa Immaculate Tumwehe, bwe yali ayonja ebifo bakaasitoma mwe baali basuze n’asanga omuwala nga yattiddwa mu kisenga nnamba musanvu (RM No.7), era ng’ali mu kitaba ky’omusaayi ng’aliko n’ebiwundu mu kifuba ne ku lubuto, n’ekiso nga kimuli ku mabbali, ate ng’omusajja gwe yali naye talabikako.

Poliisi egamba nti, Maneja w’ekifo, Anaclet Niwagaba, ye yasooka okuggulawo omusango ku fayiro namba-SD: 32/30/07/2025, CRB: 486/2025 ne ku Poliisi e Kabale.

Baazuula ebizibiti okumpi ne we baasanga omulambo okwali empiso, obuuma obukebera obulwadde bwa siriimu n’enziku, ekicupa ky’amazzi ga Rwenzori ekya liita emu nga kiri wakati n’eccupa endala ng’erimu ebintu ebya langi eyakyenvu, n’eccupa endala eya Minute Maid ne soda wa Fanta, nga nkalu, ekiteeteeyi ekiri mu langi eza kiragala n’engatto.

Maate, yategeezezza nti omulambo gw’omuwala baagutwala mu ggwanika ly’eddwaaliro ly’e Kabale, kyokka ng’amayitire g’omusajja eyamutta baali tebagamanyi okutuuka lwe baafunye amawulire nti, baamukwattidde e Kampala, mu kkanisa emu, nga yeewaako obujulizi.

Abakulembeze b’ekkanisa baawuniikiridde nga Mwesiime, awa obujulizi, kyokka olw’obukulu bw’ensonga baatuukiridde Poliisi eyazze n’emukwata.

Amangu ddala nga yaakakwattibwa, Poliisi ya Jinja Road, yakubidde ginnaayo ey’e Kabale, ne babakakasa nti kituufu babadde ku muyiggo gw’omutemu ono.

Wabula abanoonyereza ku musango guno, bakyakubagana mpawa ku nsonga lwaki omugenzi n’omusajja baakweka ebibakwatako, bwe baali beewandiisa okuyingira loogi.

Oluvannyuma lw’okukwatibwa Mwesiime, yakkirizza nti, kituufu amannya n’ebibakwatako byonna bye baawa aba loogi tebyali bituufu.

Yategeezezza nti, omugenzi ye Kobusingye, eyali ava ku kyalo Kanzaahamugyera, ekisangibwa mu muluka gw’e Shebeya, ekiri mu ggombolola ye Hamurwa, mu disitulikiti y’e Rubanda.

Kino kyayambye Poliisi okunoonya ab’enganda ze era ku Mmande, August, 11, 2025, baagenze ku ggwaanika ly’e ddwaliro ly’e Kabale, ne babawa omulambo gwe okugenda okuguziika.

Yakkirizza nti kituufu omugenzi yali muganzi we kyokka oluvannyuma ne bafunamu obutakkaanya.