MMENGO esuubizza okukwatira ku bayimbi ba Ganda Boys okumaliriza Pulojekiti yaabwe ey'okubunyisa Oluyimba Ekitiibwa Kya Buganda gyebatandika mu 2022.
Obweyamo buno bwawereddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bwabaddee mu nsisinkano n'abayimbi mu Kibiina kino okuli Dennis Mugagga ne Daniel Ssewagudde olunaku eero e Mmengo.
" Omuntu yenna ayitimusa Obuganda mulimu gwange okumuwagira, Baminisita n'abalala bonna....Buganda tesobola kudda ku ntikko okuggyako nga buli omu aliko kyakola abantu wali mu mbeera ze, nekiggyayo Ekitiibwa Kya Buganda," Mayiga bwateegeezezza.
Okutuuka ku ntegeragana eno, kiddiridde abayimbi bano okujja embuga okuwaayo okwetonda kwabwe eri Obwakabaka olw'obutakkaanya obwabalukawo, abayimbi bwetasooka kulambikibwa Bwakabaka ku ngeri y'okukwatamu Pulojekiti eno n'obuvujirizi bwayo bwebulina okubeera.
" Ssebo Katikkiro nja kutandika n'okwetonda nti ffe nga ba Ganda Boys bwetubeera tutambula emirimu eri gyetuwangalira bingi byetutamanya ku butaka nga tutandika okubaga ku mulimu guno era bwetwajja twagabatukanamu naye tulungamiziddwa abaami ba Kabaka, Baminisita, Abalangira n'Abambejja okutuuka okuterera mu layini okusobola okujja wano ate nate okulaba nga tuddamu okutambuza omulimu guno ogw'okuyitimusa Ekitiibwa Kya Buganda," Mugagga bwategeezezza
Mayiga alaze essanyu nti bano baasazeewo okudda okukolagana n'Obwabakaka mu nteekateeka eno.
" Mukoze bulungi ne mukomaawo eka era okwetonda tukukkirizza. Byetusaana okukola okulaba ng'oluyimba luno nga luyitimuka, tujja kubikola nga tubalungamya bulungi," Mayiga bwagambye.
Katikkiro ng'ayaniriz ba Ganda Boys e Mmengo
Katikkiro ayongeddeko n'ategeeza ng'ensangi zino bwebaagala okulaba ng'oluyimba luno luyimbibwa mu ngeri esaanidde.
Mayiga era abuulidde abayimbi bano nti oluyimba luno, Kabaka oba Obwakabaka bwebululinako Obwannanyinni nga buli yenna ayagala okubeerako kyakola, Alina kukolagana nabwo.
Katikkiro Mayiga yeebazizza abayimbi ba Ganda Boys olw'obuteekomoma mu kuyitimula obuwangwa bwabwe.
Mayiga agaseeko nti abayimbi bangi baagala okukopa Abazungu ng'ate bakimanyi bulungi nti tebasobola kufanana balungi bwatyo neyeebaza Ganda Boys okutambuliza ekitone kyabwe kukuyitimula Obuwangwa bwa wano.
Mugagga abuulidde Katikkiro nti omulimu ogwali gukoleddwako ne Bukedde etwalibwa Vision Group gwali gutuuse ku ly'okufuna kkwaaya y'abantu 60 nga balindiridde kugenda Bungereza okutandika okuyimba oluyimba luno.
Alaze essanyu olw'Obwakabaka okukkiriza okutambula nabo mu nteekateeka eno nga Kati banoonya obukadde 500 okumaliriza omulimu guno.
" Ensimbi zino zakweyambisibwa mu kutwala kkwaaya e Bungereza, okubaliisa, okupangisa ekifo okuyimba wekunabeera, okupangisa Kkampuni y'abakugu eri ku ddaala lya Hollywood, okusasula situdiyo eyitibwa Abbey Road studios mu kibuga London awagenda okukwatirwa oluyimba luno, n'ekifo Royal Albert Hall awagenda okukwatirwa firiimu," Mugagga bweyalabudde.
Mugagga yeebazizza Bukedde olw'obuwagizi mu lawundi eyasooka eya Pulojekiti eno era n'agumya kkwaaya eyasunsulwamu okubeera enetegefu Kati saako n'okusaba ebitongole ebirala okukkiriza okutambula nabo okuzza lwebafunye enkwatagana n'Obwakabaka.
Omukolo gwetabiddwako Omulangira Basamula Mwanga ng'ono ye Muyima w'ekibiina kyaabwe era eyabakulembeddemu saako Baminisita Noah Kiyimba owa Kabineeti, Olukiiko n'Abagenyi ng'Ono Katikkiro gweyakwasa ensonga z'abayimbi bano, Israel Kazibwe Minisita w'amawulire n'abakungu abalala.