Abayimbi bawakanyizza obuwaayiro obuli mu tteeka eribalung'amya

ABAYIMBI abegattira mu kibiina kya Uganda Rights Performing Society bawakanyizza ekiteeso kya gavumenti ekitunulidde okusiba ba mmemba b’ebibiina eby’enjawulo olw’obutatuuza nkiiko z’amwaka (AGM), emyaka 10 kyebagambye nti kino kikaawu nnyo era kyetaaga kuggyibwawo.

Abayimbi nga bali mu kakiiko ka Palamenti
By Edith Namayanja
Journalists @New Vision

ABAYIMBI abegattira mu kibiina kya Uganda Rights Performing Society bawakanyizza ekiteeso kya gavumenti ekitunulidde okusiba ba mmemba b’ebibiina eby’enjawulo olw’obutatuuza nkiiko z’amwaka (AGM), emyaka 10 kyebagambye nti kino kikaawu nnyo era kyetaaga kuggyibwawo.

Leero akakiiko ka palamenti akalondoola eby’amateeka kagenze maaso n’okwekenenya ebbago eritunnulidde okulungamya obuyiiya (Copyrights and Neigbouring Rights Amendment Bill,2025 ) nga kasisinsinkanye ebibiina by’abayimbi eby’enjawulo okufuna endowooza zaabyo.

Martin Nkoyoyo amanyiddwa nga Yoyo era nga y’essentebe w’akakiiko akatwala ekibiina kino agambye nti eky’okusiba abayimbi emyaka kkumi oba okubasasuza obukadde 50 olw’obutategeka nkiiko tekisaanidde kubanga okutuuza enkiiko zino kwetagisa ssente nga oba oli awo olumu tezibaawo.

Asomoozezza ababaka oba nga nabo ddala bwebalemererwa okubaga amateeka mu bbude bandiwulidde bulungi nga basibiddwa.

Wabula bano amyuka Ssentebe Teira abawabudde nti abantu abatuula ku bukiiko balina omuze okwebuzabuza nti bakola gwa nakyeewa ne batatukiriza buvunanyizibwa bwabwe.

Mu nsisinkano era Yoyo awakannyiza akawayiro akakikattiriza nti buli muyiiya okuwandiisa ebiyiiye byabwe basobole okufuna layisinsi eraga obwananyini kyagambye nti kano  kasanidde okukyuusibwa kubanga tewali nsonga lwaki bannabitone bakakibwa okuwandiisa ebiyiiye byebeyiyisa era omubaka Basalirwa ono amukunyiza ku nsonga eno.

AKAKIIKO era kasisinkanye abayimbi abegattira mu kibiina ki Uganda National Musicians Federation - UNMF ekikulemberwa Ediriisa Musuuza (Kenzo) era bano nga bayita mu akulira okunonyereza Martin Muhumuz, basabye wabeewo okugonzaamu mu bigambo ebikozesebwa mu teeka lino kubanga bangi ku bannabitone tebabitegeera ate nga bebananyini biyiiye.

Basaalirwa akakasizza nti Palamenti y'abantu babulijjo era eriwo kukola mateeka  agatanyigiriza bannansi nabwekityo ennongosereza bannabitone zebaagaala zigenda kutunulwamu.