Abeemulugunya ku Dr. Tanga abaanukudde

AKABINJA k’abakulembeze b’abavubuka mu NRM okuva mu disitulikiti y’e Kanungu, si bamativu na ngeri akakiiko ka NRM ak’ebyokulonda gye kaakuttemu ensonga z’okulonda kw’abavubuka okubindabinda.

Tanga Odoi
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

AKABINJA k’abakulembeze b’abavubuka mu NRM okuva mu disitulikiti y’e Kanungu, si bamativu na ngeri akakiiko ka NRM ak’ebyokulonda gye kaakuttemu ensonga z’okulonda kw’abavubuka okubindabinda.
Nga bakulembeddwaamu Mackline Natukwasa omu ku bavuganya ku kifo ky’obwassentebe bwa NRM Youth League, baasinzidde mu lukung’ana lwa bannamawulire ku wooteeri ya Kenlon mu Kampala ne balumiriza ssentebe w’akakiiko ka NRM ak’ebyokulonda, Dr. Tanga Odoi okubeera n’akakwate ku bamu ku bavuganya mu kalulu kano okuli ne mutabani we, ekitawa bavuganya balala bwenkanya kuvuganya bulungi.
Abavubuka bano baagala pulezidenti Museveni nga ye ssentebe w’ekibiina ayingire mu nsonga zaabwe okwewala emivuyo egiyinza okuddirira.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda, Dr. Tanga yagambye nti tannafuna kwemulugunya kwonna n’awa abeemulugunya amagezi okumanya nti amateeka gawa buli Munnayuganda alina ebisaanyizo omukisa okwesimbawo n’okuvuganya ku kifo kyonna ky’aba ayagadde.