Trump atadde obuwumbi 180 ku Pulezidenti eyabbye obululu

PULEZIDENTI wa America, Donald Trump ataddewo ssente doola obukadde 50 (mu za Uganda obuwumbi 177) n'obukadde 994 eri anaayamba okukwata Pulezidenti wa Venezuela, Nicolas Maduro.

Trump ne Maduro
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

PULEZIDENTI wa America, Donald Trump ataddewo ssente doola obukadde 50 (mu za Uganda obuwumbi 177) n'obukadde 994 eri anaayamba okukwata Pulezidenti wa Venezuela, Nicolas Maduro.
Maduro eyaakamala okuwangula akalulu k'Obwapulezidenti mu January akagambibwa nti yabbye kali n'adda ne mu kati, Trump amulumiriza okukulira ekibinja ekikukusa n’okutunda enjaga n'ebiragalalagala ebirala.
Amaka g’Obwapulezidenti aga White House gaafulumizza ekiwandiiko ekiraga Maduro bw’alina akakwate n’ebibinja by’abayaga bigiyingiza America n’amawanga
amalala.
Ekika ky’enjaga kye basinga okutambuza, kya fentanyl-laced cocaine. Eno njaga ya buwunga enzibu ddala eri abantu mu kwonoona emitwe.
Ssaabawaabi wa Gavumentiya America, General Pam Bondi yalabudde nti nga Trump akyali mu buyinza, Maduro alina okukwatibwa. Mu kisanja kya Trump ekyasooka, Maduro yasingisibwa omusango gw’okwekobaana okuyingiza enjaga mu America
n’ebikolwa eby’effujjo ebikwatagana n’enjaga.
Yavunaanibwa kkooti ya Manhattan Federal Court mu kibuga New York mu 2020 wadde
teyali mu kkooti. Kwolwo, ekirabo ekyateekebwawo eri anaamubatwalira kyali kya bukadde 15 obwa doola. Kyokka eyali Pulezidenti Joe Biden bwe yajja mu buyinza,
yakirinnyisa okutuuka ku bukadde 25.
Zino ze ssente ze zimu ezassibwa ku yenna anaabatuusa ku kukwatibwa kwa Osama Bin
Laden eyaluka olukwe olwakuba America n’efiirwa abantu abasoba mu 3,000 mu 2001. Wadde ssente nnyingi zirudde nga zimuteereddwaako, Maduro akyafuga Venezuela
nga n’akalulu akaakubwa gye buvuddeko, kigambibwa nti akawangula mu bukyamu.
Amawanga okuli aga European Union, aga South America n’amalala gaawakanya akalulu ke yategeka omwaka oguwedde. Minisita wa Maduro ow’ensonga z’ebweru, Yvan Gil naye yafulumizza ekiwandiiko ng’asambirira ebya Trump nti tebirina kye bitegeeza kuba ali mu nsonga za byabufuzi.
Bondi yategeezezza ng’ekitongole kya America eky’ebyamateeka bwe kyawambye
ebimu ku bintu bya Maduro okwabadde; ennyonyi bbiri ez’obwannannyini, enjaga ezitowa ttani bbiri ng’okunooonyereza kwalaze bw’erina akakwate ne Maduro. Byonna bibalirirwamu obukadde bwa doola 700. Omwezi oguwedde Trump yakola ddiiru ne Maduro bwe yasindika basajja be mu kibuga kya Venezuela, Caracas ne bakola
ku by’okuyimbula Abamerica 10 abaali baasibirwayo