Emmotoka ebadde eweenyuuka embiro ng'egezaako okuyisa etomedde omuvubuka abadde ayagala okusala ekkubo n’afiirawo oluvannyuma ly'okumulumba ebbali w’ekkubo.
Mmotoka eno ekika kya kamunye bw’emaze okumutomera n’edduka nga kati poliisi eri ku muyiggo gwayo. Akabenje kano kaagudde ku kyalo Migingi e Busunju mu disitulikiti y’e Mityana.
Omugenzi bw'abadde afaanana.
Omuvubuuka atomeddwa emmotoka ye Emmanuel Ntambi 23, ng’abadde mutuuze ku kyalo Misingi e Mityana ng’ono okumutomera abadde asala kubo wabula kamunye ebadde egezaako okuyisa gy’emusanze n’emutomera.
Abatuuze bagezezzaako okwagala okumuddusa mu ddwaliro ekkulu e Mityana kyokka n’afiira mu kkubo.
Poliisi etandise kaweefube okulaba nga banoonya ddereeva akoze kino era abatuuze mu kitundu kino basabye poliisi enoonyereze ku ddereva ono kuba ekifo we batomeredde munnaabwe kattiro nga bangi ku batuuze bafiiriddewo nnyo.
Oluvannyuma poliisi y’ebidduka ezze n’etwala omulambo mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago abasawo bagwekebejje.