Abantu basatu bafiiridde mu kabenje akagudde e Nkokonjeru ku luguudo oludda e Kisoga bbaasi bw'etomereganye n'emmotoka endala.
Abafudde kuliko Samson Olaki ng'ono abadde atambulira mu bbaasi, Emily Nassali ne Carol nga bombi babadde basaabaze mu mmotoka ekika kya Sienta.
Kigambibwa nti bbaasi nnamba UAL 770L ebadde eva e Kisoga okudda e Nkokonjeru, etomedde canter nnamba UAG 723G ebadde esimbye ku mabbali g'oluguudo.
Kitegeezeddwa nti bbaasi era erumbye Sienta ebadde edda e Kisoga nnamba UBK 901Z nayo n'egitomera , abantu ne bafa.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, agambye nti emirambo gitwaliddwa mu ggwanika e Kawolo n'emmotoka ne zitwalibwa ku poliisi e Kisoga, okuzeekebejja ng'okubuuliriza ku kivuddeko akabenje, kukolebwa.