Poliisi eri mu kuyigga abasajjja babiri abagambibwa okukuba eyali omukozi wa Wazalendo Sacco akatayimbwa n'afiira mu ddwaaliro e Mulago.
Tonny Kiyemba omutuuze mu zzooni ya Kikajjo e Namasuba mu Ssaabagabo Makindye munisipaali y’e Wakiso ye yakubiddwa akatayimbwa ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde ne bamuleka ng'agudde ku mabbali g'oluguudo e Bugoloobi mu Kampala ne bamunyaga bye yali alina.
Kigambibwa nti abaamukubye, baabadde babiri nga batambulira ku pikipiki nti era wano omuzirakisa we yamusanze ng’aboyaana, n'atwalibwa mu kalwaliro akamu e Bugoloobi ne bamwongerayo mu ddwaliro e Mulago gye yafiiridde.
Kiyemba nga mu kiseera kino abadde akola gwa kuwola ssente, abooluganda lwe omulambo baaguzudde ku Monday mu ggwanika e Mulago ng’ali mu kawale ak’omunda kokka era n'aziikibwa ku Lwokusatu e Katente mu Ggombolola y'e Nakisunga e Mukono.
Omu ku booluganda agamba nti waliwo eyamukubidde essimu ng'amuyita okugenda e Mbuya ng'okumukuba, kigambibwa nti eyo gye yabadde ava.
Aba Wazalendo gye yakola okutuusa mu 2023, baawaddeyo obukadde 5 buyambe ku bamulekwa.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, agambye nti bagguddewo ffayiro y'okuttibwa kwa Tonny nga bayiga abatemu ababiri abaabadde batambulira ku pikipiki, abaamukubye akatayimbwa.
Agasseeko nti beeyambisizza CCTV kkamera okuyambako mu kubanoonya nga waliwo n'abamu ku bantu abaggyiddwako siteetimenti okuzuula ekituufu ekyabaddewo.