ABANTU mu biti eby’enjawulo, beeyiye e Bushenyi mu kuziika eyali minisita Mary Busingye Karooro Okurut era Pulezidenti Museveni n’amutendereza olw’omukululo gw’alese mu byenjigiriza n’ebyobufuzi.
Karooro, yafa ku Mmande mu ddwaaliro lya Aga Khan e Nairobi. Mu kumuziika, obubaka bwa Pulezidenti Museveni bwasomeddwa omumyuka wa sipiika, Thomas Tayebwa era n’asiima emirimu gya Karooro gwe yayogeddeko ng’abadde omukazi omukozi era ow’amazima. Eyaliko Katikkiro wa Uganda, Dr. Ruhakana Rugunda
yatenderezza Karooro okuba omwesigwa bwe yakuhhaanya ensimbi z’ekirwadde kya
Corona ezaasoba mu buwumbi 700 ezaaweebwayo okutambuza emirimu n’okulwanyisa
ekirwadde kino. Rugunda yategeezezza nti, atambudde n’omugenzi ebbanga kuba babadde bonna mu Gavumenti era baaliko bombi mu kabineeti. Omusuubuzi era abadde
mukwano gw’omugenzi, Hajji Hassan Basajjabalaba eyasabye Gavumenti okwanguya okumaliriza etteeka ly’okweterekera mu yinsuwa y’ebyobulamu ng’amawanga agatuliraanye bwe gakola, okwongera okulongoosa ebyobulamu by’abantu era n’asaba Gavumenti okukwatagana n’amalwaliro ag’obwannannyini okutuusa obujjanjabi
obulungi ku bantu. Aba ffamire ya Karooto nga bakulembeddwaamu muganda we, Polof. Emmanuel Karooro baategeezezza nga bwe bafiiriddwa omuntu abadde empagi
luwaga mu ffamire. Mu kusiima emirimu gy’omugenzi, okubuulira kwakulembeddwaamu Omulabirizi wa West Ankole, Johnson Twinomujuni n’ategeeza nti, bafiiriddwa
Karooro abadde empagiruwaga mu Kkanisa n’asaba abazz kuziika obutakoma kutendereza
bagenzi, wabula okubaako n’eby’okuyiga bye babayigirako.