Abantu 12 abagambibwa okwenyigira mu kutunda tiketi z'omupiira ez'ebicupuli , bakwatiddwa.
Okukwatibwa kiddiridde enteekateeka z'omupiira wakati wa Uganda Cranes ne ttiimu ya South Africa ogugenda okubeerawo leero mu kisaawe e Namboole.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti bano baakuvunaanibwa emisango egy’enjawulo era n'alabula abantu okubeera abeegendereza ennyo.
Mu ngeri y'emu era, asabye abantu okugenda ku kisaawe nga bukyali okwewala akalippagano nti kuba emiryango baakugiggula ku ssaawa 9:00 ez’olweggulo.