Okukusa eby'obugagga eby'omu ttakka kw'eyongedde - Poliisi

AKULIRA poliisi evunaanyizibwa ku by'obugagga eby'omu ttaka, Julius Ceaser Tusingwire, agambye nti okukusa eby'obugagga eby'omu ttaka kweyongedde nga bitwalibwa mu mawanga agatuliraanye.

Okukusa eby'obugagga eby'omu ttakka kw'eyongedde - Poliisi
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Golodi #Byabugagga #Muttaka #Kukusa

AKULIRA poliisi evunaanyizibwa ku by'obugagga eby'omu ttaka, Julius Ceaser Tusingwire, agambye nti okukusa eby'obugagga eby'omu ttaka kweyongedde nga bitwalibwa mu mawanga agatuliraanye.

 

Agambye nti eby'obugagga bino, biggyibwa mu zzooni 9 okuli Central, Karamoja, Eastern, Kigezi, Ankole, West Nile , Rwenzoori ne Metropolitan era ng'omulimu gw'okulondoola ababisima n'okubigula, poliisi  ebikolera wamu n'ebitongole ebirala omuli ISO, ESO, minisitule y'ebyobugagga eby’omu ttaka, ministry y'ebyensimbi, ey'ebyobusuubuzi n'abalala.

Tusingwire ng'annyonnyola.

Tusingwire ng'annyonnyola.

Agambye nti okukukusa kuno kusinze nnyo okulabikira mu bitundu by'e Isingiro, Kisoro, Ntungamo ng'okusinga bakukusa Tiini, Gold , Macule ne wolofulaamu.

 

Ategeezezza nti balina abamenyi b'amateeka abazze bakwatibwa naddala nga babba eby'obugagga buno, era nga mu March emisango 6 gyaloopebwa ne bakwata abantu 4 ne bazuula obukadde 100.

 

Mu April emisango gyali 4, bakwata 8 mu May gyali emisango 13 bakwata 21, June emisango 6 bakwata 7 July emisango gyali 10 bakwata abantu 10 ate mu August baakafuna emisango esatu era baakakwatako omuntu omu.

 

Agasseeko nti n'obufere eri abasuubula Golodi awamu n'okubateega ne babanyaga nabyo, byeyongedde .